Amawulire
Police e Jinja ekutte abantu 2 abateeberezebwa okubba obuwanga bw’abafu
Namubiru Juliet
August 26, 2024
6:37 AM
Abatuuze be Kitanaaba mu Buwenge district ye Jinja bakeredde mu ntiisa, bwebasanze entaana zabantu musanvu nga zisimuddwasimuddwa. Abatuuze bagamba nti basanze entaana z’abaana 4 ziziikuddwa n’ez’abakulu 3 nga zonna ziri ku kyalo kimu. Police ye Buwenge ereese embwa ezikoonga olusu, zibatutte mu maka g’abasawo bekinnansi 2, nebakwatibwa. Sentebe w’e kyalo Kitanaaba, Baliraine Ben agamba nti […]
Abatuuze be Kitanaaba mu Buwenge district ye Jinja bakeredde mu ntiisa, bwebasanze entaana zabantu musanvu nga zisimuddwasimuddwa.
Abatuuze bagamba nti basanze entaana z’abaana 4 ziziikuddwa n’ez’abakulu 3 nga zonna ziri ku kyalo kimu.
Police ye Buwenge ereese embwa ezikoonga olusu, zibatutte mu maka g’abasawo bekinnansi 2, nebakwatibwa.
Sentebe w’e kyalo Kitanaaba, Baliraine Ben agamba nti mu ntaana zonna ezisimuddwa basanzeemu ngumbagumba na mbugo, ng’Obuwanga butwaliddwa.
Bisakiddwa: Kirabira Fred
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment