Amawulire
Omuwala asangiddwa afiiridde mu loogi e Kawempe
Namubiru Juliet
January 15, 2024
10:53 AM
Omuwala atanamanyika bimukwatako asaangiddwa ng’afiiridde mu loogi, mu Lufula Zone Kawempe Zone mu Kampala. Ssentebe w’ekitundu Ssimbwa William agambye nti okusinziira ku mbeera esangiddwamu omulambo, omuwala yandiba nga yasoose kukozesebwa nebamutuga. Ssentebe agambye nti ono omuwala wakusatu okusangibwa ng’afiiridde mu mbeera y’emu mu kitundu kye Anenyezza abaddukanya zi loogi okusuulirira obuvunanyizibwa bwabwe obw’okuwandiisa abantu bonna […]
Omuwala atanamanyika bimukwatako asaangiddwa ng’afiiridde mu loogi, mu Lufula Zone Kawempe Zone mu Kampala.
Ssentebe w’ekitundu Ssimbwa William agambye nti okusinziira ku mbeera esangiddwamu omulambo, omuwala yandiba nga yasoose kukozesebwa nebamutuga.
Ssentebe agambye nti ono omuwala wakusatu okusangibwa ng’afiiridde mu mbeera y’emu mu kitundu kye
Anenyezza abaddukanya zi loogi okusuulirira obuvunanyizibwa bwabwe obw’okuwandiisa abantu bonna abagendayo.
Police okuva e Kawempe eyitiddwa neggyayo omulambo, nga bwegenda mu maaso n’okubuuliriza.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment