Kooti enkulu e Kiboga ekalize omusirikale w'amakomera Moses Anguyo ku kibonerezo kyakuwanikibwa ku kalabba,oluvannyuma lw'okusingizibwa emisango gy'okutta abantu 4, yabasasira masasi ng'akozesa emmundu kika kya AK47.


Omulamuzi Jane Okuo Kajuga yamusalidde ekibonerezo olw'obunene bw'emisango gyeyazza, 

Anguyo emisango egimusse muvvi, kwekuli ogw'okutta eyali omukulembeze mu kkomera ly'e Kiboga ASP Catherine Hope,  Akishuri Bright, Ayebare Sarah ne Niwagaba Salson eryali likyali ebbuggye.

Alina emisango emirala 2 egy'obubbi egimusingisiddwa egy'okubba empale ya Katusiime Grace n'akajoozi ka ttiimu y'omupiira akaali aka Nabayiga Mary, n'emirala esatu egy'okutiisatiisa okutuusa obulabe ku mukamawe SP Niwagaba Ivan.

Anguyo asaliddwa ekibonerezo ky'okuwanikibwa ku kalabba  olw'okukozesa obubi emmundu ya government, saako okutta abantu nga yesigama ku mawanga gabwe. 

Omulamuzi era alagidde Anguyo aliyirire Katusiime Grace emitwalo gya  Shs35,000 olw'empale ye empanvu gyeyabba, saako okuliyirira Nabayiga Mary emitwalo  Shs20,000 ez'akajoozi ka ttiimu ya Arsenal nako keyabba.
Anguyo has 14 days to appeal against the sentence.

Moses Anguyo awezezza omuwendo gw'abantu 6 mu Uganda, abakasalibwa ekibonerezo eky'okuwanikibwa ku kalabba okuva omwaka 2026 lwegwataandika.