Ssaabaminister wa Uganda Robina Nabbanja alangiridde nti government etandise ku nteekateeka z'okuzimba Dam eziwerako mu Karamoja, ziyambeko abantu mu kitundu ekyo okulwanyisa ebbula ly'emmere nga bayita mu kufukirira ebirime.
Nabbanja agambye nti ekitundu kino kikosebwa nnyo enjala, era ky'ekimu ku bikiremesezza okukulaakulana n'abantu okukosebwa endwadde eziva ku ndya embi, wadde ng'enteekateeka nnyingi ezizze zikolebwa okuyamba abantu baayo.
Nabbanja aby'ogeredde ku office ye mu Kampala mu lukungaana olutegekeddwa government ng'eri wamu ne banna Mukago aba UNICEF, World Food Programme naabalala mwebasomedde alipoota ekwata ku Bbula ly'emmere mu ggwanga.
Nabbanja era awanjagidde abazira kisa okukwasizaako government okumalawo ekizibu ky'ebbula ly'emmere mu Ggwanga .
Mu ngeri yeemu Ssaabaminister agambye nti olunaku Lwa bulungi bwansi owabuli lwamukaaga olusembayo mu mwezi lwakubeera mu Kibuga Lira, wabula naasaba banna Uganda mu bitundu ebirala okwetaba mu bulungibwansi ku lunaku olwo buli omu ng'alongoosa gyabeera.
Minister wa Karamoja Johan baptist Lwoki asabye government nti mu kiseera kino abantube Kalamoja betaaga okudduukirirwa ng'ebafunira rmmere, nti kubanga ekyeya kibalumbye, kiyinza okuviirako abantu okufa.
Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment