Omukama wa Tooro Edward Rukidi Nyabongo ow'emyaka 57 atuuziddwa ku ngoma ya Tooro,ku mukolo oguyindidde mu kikaari kye Karuzika Fortportal era nga gwetabyeko ebikumi n'ebikumi by'abantu, era nga n'omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni abaddewo.
Wasosseewo Okusaba okuyindidde mu lutikko ya St, Johns Kabalore, okuwonga Omukama Nyabongo eri Katonda, era oluvuddeyo kwekwolekera olubiri lwe Karuzika gyatikkiddwa.
Omukama yebazizza abantu b'Obukama bwakulembera olw'okubeerawo mu bungi ,neyeeyama okukulembera Tooro n'Obuvumu.
Omukama bwabadde ayogerako eri Obukama mu Kikaari kye Karuzika, awadde yo akadde okujjukira Omukama eyakwese Omukono Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV, gwagambye nti abadde muvumu era omwagazi w'Obukama ,olw'entekaterka ezenkulaakulana zaabadde nazo.
Agambye nti Omukama Oyo yakola nnyo okutumbula embeera z'Abantu ba Tooro.
Omukama agambye nti tagenda kusuulawo Bumu obuyambye Tooro okuyimirirawo, era yeebazizza Musuuga Charles Kaamurasi Kayondo olw'obuvumu bwayolesezza, Okulaba ng'obuwangwa n'ennono bissibwamu ekitiibwa.
Omukama era agambye nti wakukolera wamu n'abakulembeze ab'ennono bonna wamu ne government, era asabye abantu abalina obukugu obwenjawulo bamukwasizeeko okutwala Tooro mu maaso.
Omukama wa Tooro Edward Rukidi Kijjanangoma Nyabongo I agambye nti waakufuba okutumbula Obuwangwa n'ennono z'Obukama, nga anyweeza enkolagana wakati w'Obukama n'Obukulembeze Obw'ennono obulala ne government eya wakati.
Omukama agambye nti Obumu yeemu ku mpagi zaagenda okukozesa okutumbula enkulaakulana mu Bukama bwe, nga asoosowaza ebyo abantu byebetaaga.
Omukama yeebazizza bannamawulire bonna baakoze nabo mu buweereza obwemyaka 12.
Omukulembeze w'Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa atenderezza Omukama Eyabula Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV olwobwetowaze nempisa, bweyamuwandiikira ebbaluwa emwebaza olw'okulonda ba minister abava e Tooro, okubaako byebamukolera mu government ye.
President Museveni asabye abakulembeze b'Ennono okulwana obwezizingirire okutumbula Obuwangwa n'Ennono nga essira baliteeka ku nnimiro ez'ebirime binnansangwa, mu Kikaali kye Karuziika mwasinzidde neyeebaza Maama Naabagereka Sylvia Naginda , olw'entekateeka zazze akola okutumbula obuwangwa n'ennono mu Bantu, naddala mu bakyaala n'abaana
President Museveni yebazizza Omukama Omugya Edward Rukidi Kijjanangoma Nyabongo I olw'obuweereza bwabaddeko mu kuweereza Amawulire amalungi eri ensiiye, namuyozaayoza olw'okutuuka ku Kkula eryo era amuwadde Ente 100 atandikire awo okulunda.
Omumyuuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Hajji Prof Twaha Kawaase Kigongo, asabye abantu b'Obukama bwa Tooro okunyweeza Obumu, kyokka naawa amagezi essira balisse ku kukuuma Obuwangwa n'Ennono nga batandikira ku kutumbula Olulimi.
Minister w'Ekikula ky'Abantu Gen. Henry Tumukunde asabye Obukulembeze bw'Ennono okussaawo obukiiko obwetengeredde kiyambeko mu kugonjoola embeera etaba nungi, mungeri eyenjawulo neyeebaza Musuuga Charles Kaamurasi Kayondo olwobuvumu bwayolesezza mu kulwanirira Obuwangwa n'Ennono z'Obukama.
Musuuga Charles Kaamurasi Kayondo mu bubakabwe yebazizza Omukulembeze w'Eggwanga Gen Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa olwobuyambi obwenjawulo bwazze awaayo eri Obukama bwa Tooro, Omuli n'Okuwagira emirimu gy'Omukama eyava mu Bulamu bwensi eno, nga wano atulise nayoza ne ku mmunye.
Ssentebe w'Olukiiko oluteeseteese amatikkira g'Omukama Munsinnya Isiah Mayombo Adyeri naye yebazizza Omusuuga Charles Kaamurasi Kayondo olw'okulwanirira Obukama, n'Okutambulira ku mazima.
Omukolo guno gwetabiddwaako abakulembeze b'Ennono, Abalangira n'Abambejja abakulembeddwamu akuuma Entebe ya Ssaabalangira wa Buganda Fredrick Ssande Kateregga n'Omulangira David Kintu Wassajja,Abataka abakulu b'Obusolya minister w'Amawulire, Okukunga era Omwoogezi w'Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, Bannaddiini, bannabyabufuzi omubadde ba minister mu government eyawakati, ababaka mu Lukiiko lw'eggwanga Olukulu omubadde Betty Ethel Naluyima ne Zambaali Bulasio Mukasa owa Nansana municipality, nebikonge ebirala bingi.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment