Government ya Uganda erangiridde nti abantu ba lubatu beebagenda okukkirizibwa ku kisaawe kyénnyonyi Entebbe, Okwegatta ku mukulembeze wéggwanga Yoweri Museveni okwaniriza Omuguta gwÓmukama wa Tooro Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV.
Omuguta gw'Omukama Oyo gwakutuusibwa ku kisaawe Entebbe ku ssaawa nnya ezokumakya,nga 04 September,2026, Okuva mu America gyeyakisiza omukono.
Government yeddiza obuvunaanyizibwa bwonna obutali bwa Buwangwa, obw'okuteekateeka emikolo gy'okukungubaga n'okuziika Omukama Oyo.
Minister avunaanyizibwa ku nsonga zóbwa President Omulongo Milly Babirye Babalanda, abadde ku Ssengejjero lyámawulire erya government mu Kampala, naagamba nti government yakusasulira buli ekyetaagisa omuli emmere, Tent, ebyokwerinda, Okuddaabiriza ekikaali kyómukama nébirala.
President Museveni gyebuvuddeko yalangirira nti Omukama wa Tooro waakuziikibwa mu kitiibwa ekimusaanidde, era náteekawo akakiiko akakulemberwa Ssaabaminister minister Robina Nabbanja nga akwatagane nÓbukama bwa Tooro okukola ku nteekateeka zókuziika.
Minister Babalanda alabudde abantu ababadde baagala okwenyigira mu bikolwa ebyóbumenyi bwa mateeka, ngábantu bakungubagira Omukama obutakigeza kubanga ebitongole byebyokwerinda biri bulindaala.
Minister avunaanyizibwa ku by'obuwangwa mu ministry yekikula kyábantu Mary Kamuli Kuteesa agambye nti abantu ba Tooro baggya kukkirizibwa okubeera ku mabbali gékkubo mu bungi okukuba eriiso ku muguta gwÓmukama, okuva e Kyegeegwa okutuuka mu kikaali kye Kaluzika.
Mu ngeri yeemu Abakungubazi bakukkirizibwa okugenda mu Kikaali kyÓmukama e Kaaluziika okumukungubagira okumala ennaku mwenda.
Omuguta gwÓmukama gusuubirwa okwanirizibwa abakulu mu byobuwangwa bwa Tooro abanaakulemberwa Omusuuga.
Omutuuga gw'Omukama gwakubeera mu kikaali e Kaluzika okutuusa nga 12-09-2026 lwanaziikibwa.
Kinajjukirwa nti ku lunaku olwo olwa nga 12-09 omukama kwabadde ajaguliza amatikkira ge .
Wajja Kubangawo ekusabira Omukama buli Kawungeezi, nábantu abenjawulo ab'enkizo okwogera ku byebamanyi ku Mukama Oyo,okumala ennaku mwenda ezokukungubaga.
Mary Kamuli era asabye abantu okukomya okwogera amafuukuule maama wÓmukama Best Kemigisa wabula bamubudeebude.
Omuhikirwa wa Tooro Calvin Armstrong Rwomiire Akiiki asabye abantu ba Tooro okwewala enjawukana mu kaseera kano akajjudde okusomoozebwa kebalimu.
Bisakiddwa: Ssekajjiijja Augustus
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment