Police ya Uganda ekutte omusirikale waayo agambibwa okukuba omugoba wa boda boda essasi erimuviriddeko okufa, olwo kugaana okwenyigira mu bulungi wansi owe ggwanga lyonna.
Government yateekawo enkola y'abantu bonna okuyonja ebitundu byabwe buli lwa mukaaga olusemba mu mwezi.
Nga 29 Auguat kwekubadde okuyonja okw'omulundi ogwokubiri, era n'ebidduka byonna tebikkirizibwa kutambula okuggyako ebitono ebirina enkizo, omuli abasawo, bannamawulire, abagenda ebweru w'eggwanga basooka kulagayo biwandiiko byabwe eri abakuuma ddembe n'abalala
Okuyonja kutandika ssaawa bbiri ezokumakya okutuuka ku Nnya.
Omusirikale wa police akwatiddwa ye Allan Okello, nga abadde akola ne police ya Ndejje -Kanaaba mu division ye Makindye Ssaabagabo, kigambibwa nti asoose kuyimiriza Kizito Ronald Juuko omugoba wa boda boda, ng'okuyonja kukyagenda mu maaso naagaana okuyimirira, kwekumuwerekereza essasi.
Omwogezi wa police mu ggwanga Kituuma Rusooke avumiridde ekikoleddwa omusirikale wabwe, era agambye nti okunoonyereza kutandikiddewo okumanya ekitanudde omusirikale ono okufulumya assasi.
Kituuma yetondde aba family n'eggwanga lyonna olw'ekikolwa ekikoleddwa omusirikale wabwe, ekibadde kisobola okwewalibwa.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment