Omubiri gw'Omukama Oyo
Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV gusuubirwa okutuusibwa mu Uganda ku Thursday nga
03 September,2026.
Minister
w'ensonga z'obwapresident Milly Babalanda nga ye ssentebe w'olukiiko lwa
government olukola ku nteekateeka z'okuziika, agambye nti omubiri gw'Omukama
gusuubirwa okutuusibwa ku butaka ku kisaawe Entebbe ku ssaawa Nnya ez'okumakya
era president Yoweri Kaguta Museveni agenda kubeerawo ng'omukungubazi omukulu.
Mu lukiiko lwaba
minister olutudde mu Maka g'obwapresident Entebbe nga lukubiriziddwa
omukulembeze w'eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa , ba minister
bakubagizza Obukama bwa Tooro ne president Yoweri Kaguta Museveni yennyini
ng'omu ku bakuza b'Omukama Oyo Kabamba Nyimba Iguru Rukidi IV.
Government yeyamye okukola ku nteekateeka zonna ez'okukomyawo
omubiri gw'Omukama okuva mu America gyeyafiiridde nga 27
August,2026,okuziika n'enteekeeka endala.
Minister Babalanda
agambye nti ku kisaawe Entebbe ,basuubira omukulembeze w'eggwanga okubeeraawo
ng'omukungubazi omukulu ,olwo bwegunagyibwa ku kisaawe, gwakuteekebwa ku
nnyonyi endala gutwalibwe e Kyegeegwa, oluvanyuma gujjakuteekebwa ku kigaali
guvugibwe okutwalibwa e Fort Portal mu lubiri lwe Kaluziika.
Milly Balanda agambye
nti gavument egenda kukola ku nteekateeka zonna, okuli okokomyawo kuno omubiri
gw'Omukama, okuliisa abakungubazi, n'emisoso emirala gyonna egyetaagisa
okuwerekera Omukama mu kitiibwa ekimujaamu.
President Museveni
yalangirira nti eggwanga lyakukungubaga okumala ennaku 3 okuli olunaku
oluddirira okuziika , Olunaku olw'okuziika saako olunaku ng'okuziika kuwedde,
nga bendera 'zeggwanga zigenda kuba zeewuubira mu makati g'emirongooti munda mu
ggwanga ne ku bitebe bya Uganda mu mawanga amalala.
Government era
yalangirira nti Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru agenda kuziikibwa mu bitiibwa
by'eggwanga ng'omukulembeze ow'ennono ow'Obukama bwa Tooro.
Mu mbeera Eno, gavument
okuyita mu kakiiko kaayo akakola ku kuteekateeka emikolo akamanyiddwanga The
National Organising Committee akakulemberwa minister w'ensonga zobwa president
Milly Babalanda kaatandiikirawo okukola ku nteekateeka zonna nga kakolera wamu
n'obukulembeze bwobukama bwa Tooro.#
Comments (4)
Leave a Comment