Olukiiko lw'abantu 21 okukulemberwa omusuuga nga ye Ssaabalangira wa Tooro, lulangiridde nti omubiri gw'Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru Rukidi IV gusuubirwa okukomezebwaawo ku Monday nga 31 January,2026, okuva mu America gyeyafiiridde.
Okusinziira ku kiwandiiko ekitongole ekifulumiziddwa olukiiko luno okuva mu offiisi y'Omusuuga, olukiiko lulangiridde nti omubiri g'Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru bwegunaatuusibwa mu Uganda gwakutwalibwa butereevu mu lubiri lwe Karuziika e Kabalore mu Bukama bwa Tooro.
Mu lubiri lwe Karuziika yewagenda okubeera okukunguba okukulu n'enteekateeka zonna ez'okuziika Omukama.
Olukiiko luno lulambise nti offiisi y'Omusuuga ng'etambulira wamu n'ekika ky'Ababiito bebokka abavunaanyizibwa ku kukola ku nteekateeka z'okunoonya omusika anaddira Omukama Oyo Nyimba Kabamba Iguru mu bigere.
Olukiiko luno era lulungamiza nti ennaku omwenda Obukama bwe Tooro zebugenda okumala nga bukuunguba zakutandiika mu butongole ng'omubiri gw'Omukama gukomezeddwawo ku buttaka.
Olukiiko luno era lulonze Father Dr.Charles Oyo, Mr.Musinguzi Moses ne Isaac Rwabwoni, nga bakolera wamu NOmuhiikirwa wa Tooro okuvunaanyizibwa ku nsonga z'amawulire n'okwogerera enteekateeka z'okukungubaga, okuziika n'okunoonya omusika.
Olukiiko olwawamu olukulemberwa omusuuga Charles Keith Kamulasi, kuliko abalala okuli Munsinya Dr.Isaac Magambo, Fr Dr.Charles Oyo, Dr Kagoro Kaijamurubi n'abalala .
Minisiter w'ebyobulambuzi n'ebisolo byomunsiko Col. Tom Butime yalondeddwa okukwanaganya ensonga za government n'Obukama bwa Tooro ku nsonga z'okuziika n'okukungubaga.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment