Obwakabaka bwa Buganda butenderezza emirimu gyeyali ssenkulu wa Centenary bank, Omukungu Dr. Fabian Kasi, olw'obuvumu n'ettendo byatadde mu buweereza bwe n'okuwagira emirimu gy'Obwakabaka.
Omumyuka ow'okubiri owa Katikkiro, era omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa,agambye nti Omukungu Fabian Kasi, ekiseera kyamaze nga ye ssenkulu wa Centenary bank, abadde muntu mulamu nnyo era omukkakkamu ku nsonga z'embuga era ateegulumiza olw'ebitiibwa byalina.
Owek. Nsibirwa era yeebaziza nnyo, Omukungu Fabian Kasi, olw'obuweerezabwe okuyita mu kitongole kya BBS Terefayina, gyawererezza n'obwesimbu kati emyaka mukaaga.
Ababyogeredde ku mukolo ogubadde ku Serena hotel mu Kampala, omukungu Fabian Kasi, bwabadde atongoza ekitabo kyeyawandiise yakituumye "Entrusted" ekiraga olugendo lw'obulamu bwe.
Dr. Fabian Kasi omuwandiisi w'ekitabo ki "Entrusted", agambye nti aboomumakage, naddala mukyalawe n'abaana, emikwano ku mirimu gyazze akolera ne banna Rotary, bebamu ku baamuwalirizza okuwandiika ekitabo, kubanga bamuwaniridde nnyo mu mirimu gye.
Agambye nti okuwandiika ekitabo kino yeemu ku ngeri mwayise okuddiza Katonda olw'obuweereza bw'abaddemu n'okuddiza ku bantu babulijjo, nti era nsimbi ezinakunganyizibwa okuva mu kitabo kino zaakuyambako okusasulira abaana abeetavu ebisale byokusoma. #
Comments (3)
Leave a Comment