Ekitongole ekivunanyizibwa ku kittavu ky'abakozi National Social Security Fund, kyadaaki kituuse ku nzikiriziganya n'omugaga Amos Nzeeyi ,ku Ttaka ly'e Ttemangalo, ku yiika 55 ezibadde zibagugulanya okumala emyaka 18.
Bino bituukidwaako mu
kakiiko ka parliament akalondoola enkola y'emirimu mu bitongole bya government aka COSASE ,Omugagga Nzeeyi, n'abakulu okuva mu kitongole kye kittavu kya
bakozi ekya NSSF, ababadde bakulembeddwamu akikulira Patrick Ayota ,bwebabadde
balabiseeko okuttanya ku vvulugu ali ku ttaka lye Temangalo nga lino
lyabaguzibwa Omugaga Amos Nzeeyi.
Ababaka abatuula ku
kakiiko kano basoose kukunya mugagga Nzeeyi okweremeza ku ttaka lino, eriwerera ddala yiika 55 naazimbako amaka kwossa okulundirako Ente kyokka nga yali
yaliguza NSSF, ekintu ekibadde kisibye emirimu gy'e kitongole kino.
Mukwewozaako Omugagga
Amos Nzeeyi ategezezza nga yiika zino 55 ez'ogerwako bwezitali mu ndaagaano
kwezo NSSF lyeyamugulako, Wabula olw'okutereeza erinnya lye asazeewo okubaddizza
ssente mu yiika 45 okutudde amaakage ne faamu okusinziira ku bbeeyi yalyo
olwaleero, olwo zo yiika endala 10 nti agenda kuzibanoonyeza ku ttaka
lyakyayinako obwannanyini.
Enzikirizaganya eno,
Nzeyi agambye nti yatuukiddwako nga tebanajja mu kakiiko, okusinziira
ku kiwandiiko ssentebe wa Kakiiko kano Muwada Nkunyinji kyasomedde ababaka.
Kyokka Nzeeyi
mukusooka, asoose kukyomera bantu okuli ne bannamawulire nti babadde basusse
okwonoona erinnya lye, nga bamuyita omubbi w'ettaka lye Temangalo ,era naabasaba
okukikomya nti kubanga ettaka alina erimala aliko ne lyazze agaba obugabi.
Ssenkulu w'e kitongole kya NSSF Patrick Ayota akakasizza enzikiriziganya eno, era naagamba nti kati ekisigalidde kwekutwala ensonga eno mu lukiiko olufuzi olw'ekittavvu, ministry y'eby'ensimbi kko n'omuwabuzi wa government mu by'amateeka (Solicitor General) oluvannyuma bakomewo eri akakiiko bateegeeze ababaka ekyenkomeredde.
Bisakiddwa: Nabagereka Edithie
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment