Obwakabaka bwa Buganda  bufulumizza entekateeka egenda okugobererwa mu kudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka egigenda okubeerawo ku sande nga 7 April,2024   mu Lubiri e Mengo.

Emiryango gy’OLubiri gyakuggulwawo ku ssaawa 11 ezokumakya, era abantu bokka abanaaba bambadde obujoozi bw’emisinde gyomwaka guno 2024 bokka bebokukkirizibwa okuyingira.

Abagenyi abalina ebbaluwa ezibayita bakukozesa   Wankaaki wo Lubiri  basimbe ebiddduka ku Kisaawe kye Ssomero lya Lubiri High.

Abalala abalina ebidduka bakukozesa omulyango  oguva mu Ndeeba (Nalongo ), era bakubisimba mu kibangirizi ekiri  okumpi ne Nabagereka Primary School.

Omulyango ogutunudde mu Kisenyi (Kalaala) n’oguva e Kibuye ( Ssabagabo)  gyakukozesebwa babigere bokka.

Wateereddwawo ne Parking y’e bidduka endala ku luguudo Mwanga 2 okuliraana  essomero lya Eagles Nest.

Abaddusi bakutandika n’okukola dduyiro nga tebanasimbulwa kugenda ku misinde.

Abaddusi bonna bakukozesa Wankaaki  okufuluma olubiri  okuyita ku Luguudo KabakaNjagala  , bakwate ku Kisingiri Road , olwo  baawukanire ku mulyango gwa Bulange.

Abadduka Kilo Metre   21 baakwolekera ebitaala bye Nateete, boolekere Busega, Nothern Bypass baviireko e Masanafu nga bagoberera endagiriro.

 Abadduka ba Kilo Metre  10 bakwambukira   ku  Ekeleziya e Lubaga , ate aba  Kilo Metre 5 bakukozese Nabunnya Road nga bagobereera  obupande  obunassibwa ku makubo gyebanaayitira.

Minister wa Bavubuka emizannyo n’ebitone Ow’ek. Robert Sserwanga Salongo yayanjudde entegeka eno ku mukolo ogubadde ku Bulange e Mengo.

Akulira Police y’Ebidduka mu Kampala n’emiriraano  Alinaitwe Godrine, ategeezezza   nti enguudo ezimu zakuggalwa ku Sande okuwa omwagaanya abaddusi ,nga ku zino  kuliko   Ring Road , Kabusu ,  Busega , Kisenyi n’endala,    asabye abantu okugondera enkyukakyuuka ezo.

Omwogezi wa Police mu Kampala n’emiriaano Luke Oweyesigire agambye nti ebitongole by’eby’okwerinda  byetegefu  okukuuma abantu ba Kabaka abagenda okwetaba mu Misinde, nalabula abakozi b’effujjo obutetantala kulinnya mu Lubiri.

Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka guno gyakutambulira ku kaweefube w’okulwanyisa obulwadde bwa siriimu.

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius