Eyaliko president wa Senegal Macky Sall omu ku baddugavu okuva ku lukalu lwa Africa ababadde bavuganya ku kifo kya Ssaabawandiisi w'ekibiina ky'amawanga amagatte ki United Nations olwokaano aludduseemu.

Macky Sall yali yasembebwa eggwanga lya Burundi ne Senegal.

Mu kiwandiiko kyafulumizza annyonnyodde nti okuva mu lwokaano luno kivudde kukukaanya okwavudde mu bamu ku ba memba b'akakiiko k'ebyokulonda ak'ekibiina ky'amawanga amagatte, abagamba nti Ssaabawandiisi w'ekibiina kino addako abeere ng'asibuka mu Latin America oba mu ttunduttundu lya  Carribean era nga wakiri mukyala 

Macky Sall anyonyodde nti yebuuuzizza ku mukulembeze w'eggwanga lye Diomaye Faye, n'omukulembeze wa Burundi era ssentebbe w'omukago ogutaba amawanga ga Africa ogwa African Union, General Everiste Ndaishimiye ku nsonga eno, kwekusalawo ave mu lwokaano luno.

Macky Sall munnansi wa Senegal ne Ambassador Olara Otunu munnauganda bebaddugavu okuva ku ssemazinga Africa abadde mu lwokaano luno, olw'okulonda Ssaabawandiisi w'ekibiina ky'amawanga amagatte okudda mu bigere bya Antonio Guterrez munnansni wa Portugal, agenda okumalako ekbisanjabye ebibiri nga 31 December 2026.

Okuva kwa Macky Sall mu lwokaano luno, kuleseemu Ambassador Olara Otunu yekka nga yava ku lukalu Africa.

Ambassador Olara Otunu olwokaano luno alusigaddemu ne  Ivonne A-Baki munnansi wa Equador, Rebecca Gryspan mumnannsi Chile n'abalala 

Okuva kwa Macky Sall mulwokaano kijjidde mu kiseera ng'obululu bwonna obw'okwogezaamu obuzze bukubwa, buzze bumuteeka mu basiinga okukola obubi, nga bwonna kumpi buzze busukulumya  munnansi wa Costa Rica omukyala Rebecca Gryspan, ng'ono yali mumyuuka wa president okuva mu Latin America nti yakira ku balala.

Wabula alipoota envanyuma okuva mu kibiina ky'amawanga amagatte zaalaze nti bakirimaanyi mu kibiina kino okuli China, America, Russia, Bungereza ,Russia ne France ssibamattivu n'omutindo gw'abantu abavuganya mu lwokaano luno.

Alipoota zezimu zaalaze nti eggwanga lya America lyayogedde kaati nti terinalabawo asaanidde kwabo abavuganya mu lwokaano luno, ng'oba olyawo nti wandibaawo omukisa gw'abantu abalala okwesogga olwokaano luno.#