Ministry yebyobulimi obulunzi n'obuvubi ewadde abavubi ba mukene esuubi, erangiridde nti omwezi ogujja ogwa November,2026 okuvuba mukene kwakuddamu okutojjera ku nyanja zonna ezavubanga mukene.

Government ku ntandiikwa y'omwaka guno 2026 yawera okuvuba  mukene mu ggwanga bweyategeeza nti envuba ya mukene eyaliwo, yali ekozesebwa okuvuba ebyennyanja ebito.

Okuva olwo, abalunnyanja abaali bayimirizaawo obulamu ku buvubi ne business za mukene babadde balajaana, olw'ennaku gyebabaddemu okuva ekkoligo lino lweryalangirirwa.

Minister omubeezi ow'ebyobuvubi Robert Migadde Ndugwa asinzidde ku mwalo e Ddimu mu Gombolola ye Kyesiiga mu district ye Masaka, naalangirira nti omulimu gwokuvuba mukene gugenda kuggulibwawo omwezi ogujja ogwa November, era nga ministry yakulaangirira olunaku.

Wabula Migadde alabudde nti government egenda kubeera nkambwe nnyo eri abatagoberera mateeka, era omwala ogunaalemera ku nvuba embi gwegujja okuggalwanga  okumala ekiseera.


Minister  Migadde alagidde akulira ebibinja ky'amaggye ekye 155 ekirwanyisa envuba embi ku nnyanja Maj Kawaddwa Ssebukeera, okubaako abantu bekikwata abeerimbika mu kulwanyisa envuba embi songa bamenyi b'amateeka.

Miniater alambudde emyalo egiwera, okuli Ggolo, Kaamaliba, Lambu n'emirala abavubi gyebamubuulidde embeera gyebalimu.