Essaza Kyaddondo nate lizzeemu nerimegguza amasaza amalala 17 mu nkola yÉmirimu ey'omwaka 2025/2026, nga ekifo kino likyeddizza omulundi ogwokubiri ogwÓmuddiringanwa.
Ensengeka y'amasaza nga bwegakoze n'obubonero buli limu lyebufunye ku buli kikumi.
1. Kyadondo 72.7
2. Ssingo 70.7
3 Gomba 64.1
4. Mawokota 59.5
5.Busiro 56.5
6.Busujju 53
7.Kabula 52.2
8. Bulemeezi 52.1
9. Buweekula 50.5
10. Kyaggwe 47.8
11.Mawogola 46.8
12. Butambala 46.2
13. Buddu 34.3
14.Kooki 33.9
15.Buvuma 32.7
16.Bugerere 29.7
17.Buluuli 25.4
18.Ssese 24.3
Bwabadde asisinkanye abantu ba Kabaka abakiise embuga okuleeta Luwalo lwange mu Bulange e Mengo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza abawanguzi aba Kyadondo olw'obukozi obusukkulumye, kyokka nayozaayoza Busujju olwokukola obulungi neseetukako.
Katikkiro asinzidde mu Luwalo , abantu ba Kabaka mwebasondedde Obukadde 65 naasaba abalimi okwettanira tekinologiya owÓkufukirira ebirime mu Ppereketya wÓmusana, bawone ekyeya ekittattanye ebirime.
Minister wa gavumenti ez'ebitundu owek Joseph Kawuki , yebazizza bonna abatuuse ku buwanguzi obwenjawulo, era naasaba amasaza agatakoze bulungi, obutagwamu maanyi.
Omwami wa Kabaka amukulembererako essaza Busujju Isreal Lubega Maaso Kasujju, ategeezezza nti obuwanguzi bwebatuseeko bugenda kukozesebwa okumegga essaza Kyadondo , erikyeriisa enkuuli mu kifo ekisooka.
Kati Kyadondo yegenda okudda okuteekateeka olunaku lwa Bulungibwansi ne govumenti ez'ebitundu olw'omwaka guno 2026.
Bisakiddwa:Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment