Government erangiridde nti yaakuteeka omusolo ku nsimbi zeriyirira bannannyi ttaka kweteeka enkulaakulana, omuli okukola enguudo okuzimba amasomero n'ebirala nti kubanga nabo babiganyulwamu.



Minister wéttaka amayumba nénkulaakulana yébibuga Judith Nabakooba Nalule agambye nti waliwo abantu abamanya nti government erina oluguudo lw'egenda okukola, olwo nebadduka nebagula ettaka ku bantu ababeera mu bitundu ebyo,  nebabinika government ensimbi nnyingi.




Mu kaseera kino government yetaaga trillion 8 okuliyirira bannanyini ttaka kwerina okuteeka enkulaakulana omuli amalwaliro, enguudo, amasomero n'ebibangirizi by'amakolero.

Kino kyekyawaliriza ministry yéttaka amayumba nénkulaakulana yébibuga okubaga ennambika egenda okulungamya engeri government gyeriyiriramu bannannyi ttaka abo, okumalawo ekizibu ekyo nga ennambika eyo etuumiddwa National Land Acquisition, Resettlement and Rehabilitation Policy 2026.


Minister Judith Nabakooba Nalule agambye nti omusolo oguteereddwa mu nnambika eyo gugenda kwanguyiza government okutuusa obuweereza ku bantu baayo.


Minister abadde ku Hotel Africana mu lukungaana olutegekeddwa ministry yéttaka olwetabiddwamu abakugu okuva mu ministry nébitongole ebyenjawulo nékigenderwa eky'okwongera okuwabula ministry ku nnambika eyo.


Ennambika eno yatandika okubagibwa mu 2017 nga evujjiriddwa bank yénsi yonna, era ng'erimu ebintu ebyenjawulo ku ngeri ettaka government kweteeka enkulaakulana gyeririna okukwatibwamu.


Akiikiridde Country Director wa Bank yénsi yonna Dr. Fadzai Naome Mukonoweshuro agambye nti baakwongera okuteeka ensimbi mu nnambika eno okutuusa nga eyisiddwa olukiiko lwa ba minister.


Agambye abantu bwebawaayo ettaka okusaako enkulaakulana ebeera yakugasa abantu bonna, n'olwekyo abantu tebalina kusaawo mizizko giremesa, kyokka ate era egenda n'okutaasa  abawejjere okutulugunyizibwa nga government etutte ettaka lwabwe.



Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus