omukutu gwÉbyempuliziganya ogwa Airtel Uganda guzzizza buggya endagaano nÓbwakabaka bwa Buganda okutuusa mu mwaka 2029.
Ezimu ku ntekateeka Airtel zezze eteekako amaanyi mu mukago guno kuliko okulwanyisa Mukenenya, okutumbula ebyemizannyo nga Emipiira gyÁmasaza , egyÉbika nensonga endala nyingi.
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti enkolagana ya Airtel nÓbwakabaka evuddemu ebibala bingi ddala, era Obwkabaka bwetegefu okukuuma enkolagana eyo.
Omumyuuka owookubiri owa katikkiro era nga ye muwanika wÓbwakabaka Owek Robert Wagwa Nsibirwa agambye nti mu nkolagana eno Buganda ne Airtel baganyuddwaamu kyenkanyi, olwebyo ebirungi ebituukiddwako.
David Birungi omukwanaganya wa Airtel Uganda nÓmuntu wabulijjo ku lwa ssenkulu wa Airtel Uganda Soumendra Sahu akinogaanyizza nti bagenda kwongera kweebyo byebazze bakola mu myaka 12 egiyise, Buganda eyongere okuyitimuka
Ssenkulu wa Majestic Brand ekitongole ekivunaanyizibwa ku bannamikago mu Bwakabaka Omuk Remmy Kisaakye, ategeezezza nti enkolagana eno ebaddemu okufuna ku njuyi zombi, ekiwa essuubi mu nteekateeka y'okukuuma emikago n'okukola emirimu egyenjawulo.
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment