Abeby’okwerinda ku parliament ya Uganda bezoobye nábakozi abeera enguudo zékibuga Kampala aba Community Sacco bwebalumbye parliament nga bagala  Spiika ayingire mu nsonga zabwe  olw’obutatasasulwa   okumala ebbanga lya myezi etaano.

Mu mbeera eno ba Kansala ba KCCA babadde bakubaganya ebirowoozo ku misala gy’abakozi abeera enguudo, basazeewo okwekangadaga ne bafuluma olukiiko,  olwo nebagatta ku bakozi  bano ababadde bakungaanidde mu luggya lwa  KCCA ku City Hall  neboolekera parliament.

Babadde bakutte ebipande ebirumiriza Ssenkulu w’ekibuga n’abakulembeze abalala obutabasasula misala n’ensimbi z’abakozi eza NSSF.

 

Wabaddewo akanyolagano wakati wa baserikale  n’abakozi bonna ababadde abakaawu nga bagala okwesogga parliament.

Wabula Speaker Annete Annita Among awaliriziddwa okufuluma ekizimbe okwogerako nabo n’abasuubiza  okukola ku nsonga zaabwe  basasulwe.

sipiika ayise abakulira KCCA okugenda mu parliament ku lwókubiri nga 5 March,2024 bagende bannyonyole ku nsonga zábakozi bano.

 

Abeera enguudo za Kampala bagamba nti basasulwa shs 4000 buli lunaku,zebagamba nti zikyali sente ntono nnyo bwogeraageranya némbeera mwebakolera, wabula nazo bamala emyezi egisoba mu esatu nga tebasasuddwa.

Ababaka abakiikirira ebitundu bya Kampala okubadde Omubaka Omukyala owa Kampala Shamim Malende , Allan Ssewanyana owa Makindye West , Ronald Balimweezo Nsubuga owa Nakawa East bawagidde abekalakaasi nebawera nti sibakiriza bantu babwe okunyigirizibwa.

 

 

.