Abayizi emitwalo 920, 833, okwetoloola eggwanga lyonna batandise okukola ebigezo byabwe ebimalako omutendera gwa Primary, ebya Primary Leaving Examinations (PLE) 2026.
Ebigezo bino byakumala ennaku bbiri, nga 03 ne 04 November,2026.
Ku lunaku olusoose bakeeredde mu lupapula lwa Mathematics, olweggulo bakukola olupapula lwa SST, ate enkeera, bakukerera mu lupapula lwa Science olweggulo bakole olupapula lwa English.
Ayogerera UNEB, Jennifer Kalule Musamba, agambye nti abayizi bano beeyongeddeko obungi bwa bwa mitwalo 102,835 byebitundu 12.5% okuva ku muwendo gw'abayizi emitwalo 817,998 abaatula ebigezo bya PLE omwaka oguwedde 2025.
Abayizi ebitundu 53% bawala nga bakola omugatte gwa mitwalo 484,620 ate abalenzi bali ebitundu 47% bakola omugatte gw'abayizi emitwalo 436,213.
Abayizi abasomera mu masomero agayambibwako government mu nkola eya Universal Primary Education, (UPE), bakola ebitundu 63% nga bawera omugatte emitwalo 575,342 ate abeewerera mu masomero g'obwananyini bali emitwalo 344,491.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment