Police mu district ye Luweero esanze akaseera akazibu okukakkanya abatuuze ababadde batasalikako musale ku kyalo Wattuba ekisàngibwa mu gombolola ye Kamira, ababadde beekalakaasa kubigambibwa nti ebyokoola bibamazeeko emirembe.

Abatuuze balumiriza nti ebyokoola byakatta banaabwe  5, abalala  bali kundiri.

Abatuuze bano okuva mu mbeera kivudde kunfa yabannaabwe 5 etategeerekeka, nti kyokka nebwebekubira enduulu mu bakulembeze wabeewo ekikolebwa  mpaawo buyambi bwebafunayo.

Banokoddeyo bantu abazze baffa mu ngeri etategerekeka mu naku 3 ezomuddiringanwa, kuliko; Ivan Mujiji nga ono yatondoka butondosi naafa,Nalongo Nalwaayi  yakwatibwa obulwadde obutategerekeka ku saawa emu naffa ku saawa 5,Ben Miiro ,Kooza  ne Jjuuko.

Abatuuze bekumyemu ogutaaka nebekalakaasa, era nebalumba n’ennyumba y’omutuuze nebagikumako omuliro,  omu kwabo abagambibwa nti bebalina ebyokoola eyokeddwa.

Police okuva e Kamira eyitiddwa nekakkanya abatuuze nga tebanayongera kutwalira mateeka mu ngalo.

Bisakiddwa: Consolanta Ttaka