Police ye bidduka ekutte omugoba wa motoka evuddeko akabenje akafiriddemu abantu 3, mmotoka gyabadde avuga bwegaanye okusiba neetomera aba boda boda 2 n'omuntu omu abadde ku makubo ge, n'abalala basigadde na bisago, okumpi n'akatale ka USAFI mu Kampala.


Akabenje Kano kabaddwo ku saawa nga taano ezokumakya nga 01 September,2026 ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa Road okuliraana Cornerstone house ne USAFI market mu Kampala.

Emmotoka ekika kya Canter namba UAX 513N egaanye okusiba neetomeera abantu, era Omugoba wa mmotoka eno akwatiddwa akumibwa ku police ya Old Kampala.

Omwogezi wa police y'ebidduka Micheal Kananura asabye abagoba be bidduka okubiteeka ku nguddo nga bakakasizza nti biri mu mbeera nnungi okutaasa obulamu bw'abalala.#