Abantu 2 kiteeberezebwa nti bakubiddwa amasasi agabattiddewo mbulaga ku luguudo lwa Bawalakata mu bitundu bye Kasubi ku njegooyego zÉkibuga Kampala, ababakubye tebayimiridde.

Abakubiddwa amasasi babadde batambulira ku pikipiki ebadde edduka emisinde, ng’ababakubye amasasi babadde batambulira mu motoka kika kya  Drone.

Abamu ku babaddewo  nga bino bigwaawo bategeezezza CBS , nti abakubiddwa amasasi babadde boolekera bitundu bya National Housing Namungoona , era nga kiteeberezebwa nti babadde babbi  abanyakula ebintu byabantu nga bakozesa pikipiki.

Police tenabaako byetaangaaza ku ttemu lino.

Bisakiddwa: Kato Denis