Abantu 9 bafiiridde mu kabenje akagudde mu bitundu bye Dyango mu district ye  Rakai, n’abalala 25 baddusiddwa mu malwaliro nga bali mu mbeera mbi.

Abafudde kuliko omwana ow’omwaka gumu n’ekitundu, abakyala 2 n’abasajja 6.

Babadde bagenda  kuziika mu district ye Isingiro, emmotoka kwebabadde batambulira neremerera omugoba waayo negwa neyefuula.

Emmotoka eno UAP 559 X  kika  kya Canter ebadde evugibwa omugoba  ategerekeseeko erinnya limu erya Eric.

Akulira police y’ebidduka e Rakai Bigimaana fudyeri agamba nti emmotoka eno ebadde mu mbeera mbi era nga n’emipiira gibadde gyaggwako dda.

Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi