Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza Abantu ba Buganda ne mikwano gyabwo olw’Okumuwuliriramu , kati emyaka 13 nga Ssaabasajja Kabaka amukwasizza Ddamula okumulamulirako Obuganda.
Katikkiro atuuzizza olukuηaana lwa bannamawulire mu Butikkiro e Mengo, mwayanjulidde ebintu ebyenjawulo ebituukiddwa, okuva nga 12 May,2013 Ssaabasajja Kabaka lweyayatula erinnya CHARLES PETER MAYIGA… Katikkiro naddamu nti WAMPA SSEBO era naamukwasa DDAMULA olwo naafuuka Katikkiro wa Bugandabkati emyaka 13 beddu.
Katikkiro agambye nti okuva olwo abantu b’Omutanda bamuwuliriddemu, era nebakyuusa Obulamu bwabwe n’Obwakabaka bwa Buganda.

Eby’enkizo ebituukiddwako;
-Okulima Emwaanyi mu Buganda ne Uganda yonna kweyongedde
-Okutondawo ebitongole ebiwa abavubuka emirimu mu Bwakabaka kulinnye
-Amasiro g’e Kasubi gaawedde oluvannyuma lw’Emyaka 14 lwegaakwata omuliro.
-Okutereeza enzirukanya y’emirimu
-Okweyongera mu buyiiya n’ekiruubirirwa ky’okufuna ensimbi (Luwalo lwaffe)
-Okwongera embavu mu Lukiiko lwa Buganda.
-Okutuusa obuweereza ku bantu ba Kabaka mu by’obulamu, Ebyobusuubuzi,Ebyenjigiriza, Ebyempuliziganya n’ebirala.
-Okusoosowaza ensonga z’obuwangwa
-Olulimi Oluganda lwongedde okutinta
-Okusembeza abavubuka ne bannabitone
-Okutumbula eby’emizannyo
-Okunyweza obumu ,
-Okusitula Omutindo mu byonna ebikolebwa
Katikkiro ategeezezza nti Obwakabaka bwongedde okunyweeza enkolagana yaabwo ne government eyawakati mu kutumbula ebyobulamu, nga essira lissiddwa nnyo mu kulwanyisa Okusasaana kwa Mukenenya ssaabasajja nga yakutte Omumuli.
Katikkiro Mayiga akinogaanyizza nti enteekateeka Namulanda ey’Okukulaakulanya Olubiri lw’e Mengo ekyagenda mu Maaso, nga eno Ssaabasajja Kabaka kennyini yaagirinako Obuvunaanyizibwa obw’enkomeredde.
Ebisoomooza;
Owomumbuga mu ngeri eyenjawulo ategeezezza nti akyasomoozeddwa embeera y’Ebiragalalagala ebisasaanidde abavubuka, ekikyaali Omuziziko mu kulwanyisa okusasaana kwa Mukenenya mu Uganda, naasaba abavubuka beddeko beewale ebitamiiza.
Bwabuuziddwa ku ntekateeka y’Obwakabaka ay’Okusitula bannabyaabufuzi bamusaayi muto abategeera ensonga za Buganda era abayinza okuzirwanirira, katikiro agambye nti nga Obuganda buyita mu bibiina by’Obukulembeze ebiwerako, bulina abavubuka bangi abategeera ebyobufuzi, era nga beesigwa eri Obwakabaka era ekyo kikoleddwako ddala.
Bisakiddwa: Kato Denis












