Ababaka ba parliament ya Uganda abatuula ku bukiiko okuli akalondoola ebyokwerinda n’ensonga zomunda mu ggwanga, saako akalondoola eby,amateeka obubadde bwetegereza ebbago ly’etteeka erya Protection of sovereignty bill 2026, balemeddwa okukaanya ku bbago lino,era bakoze alipoota ezikontana ku bbago lino.
Alipoota ezikoleddwa kuliko ekuliddwamu ssentebbe w’akakiiko ka parliament ak’ebyamateeka Stephen Baka Mugabi ne munne akulembera akakiiko ka parliament akalondoola ebyokwerinda n’ensonga zomunda mu ggwanga Wilson Kajwengye n’abalala.
Ate alipoota endala ekoleddwa ababaka okuli owa Busiro East Medard Lubega ssegona, Wilfred Niwagana, Jonathan Odur n’abalala.
Government okuyita mu ministry y’ensonga zomunda mu ggwanga yalyanjula eri parliament wiiki 3 eziyise, ababaka b’obukiiko buno obubiri nebusisinkana ebitongole ebyenjawulo abisoba mu 50 okufuna ebirowoozo byabwo ku bbago lino.
Government mu bbago lino, egamba nti egendereddemu okunyweza obwetengereze bw’eggwanga naddala ku nsimbi eziyingira eggwanga, okulondoola gyeziva, abazireeta, gyeziraga nebyezigenda okukola okulaba nti tezikozesebwa abagwira okuvugirira ebikolwa ebitabangula eggwanga.
Mu lusirika lw’ababaka bano oluyindidde ku Speke Resort e Munyonyo okumala ennaku 4, ensonga kwebasinzidde okwawukanira, kyekyokuba nga bannansi abeebuziddwako baagaanye ebbago lino, wabula ate obukulembeze bw’akakiiko nebulemerako nti liyisibwe.
Abamu ku babaka abatuula ku kakiiko babuulidde CBS nti ebitongole 53 byebyalabiko eri akakiiko kano okuwa ebirowoozo, nabantu kinoomu 51 baagaana ebbago lino, nga kwekuli ekitongole ki Financial Intelligence Authority ekirondoola okukukusa ensimbi, bank of Uganda, World bank, akakiiko k’eggwanga akalezi k’eddembe ly’obuntu n’ebirala.
Ensonga endala egambibwa okuba nti yeereteeredde ababaka okukola alipoota ezikontana, yeya minister w’ensonga z’amawanga amalala okusaba asisinkane obukiiko obwo aweeyo ebirowoozo bye ku bbago lino, engeri gyekiri nti yalina okuliwolereza mu mawanga amalala, wabula olunaku lwa Tuesday nga 05 May,2026 olwamuweebwa ate akakiiko lwekagenda okwanjulira parliament alipoota.
Ensonga endala bwebukulembeze bw’akakiiko okukkiriza bukolokolo ennongosereza n’enkyukakyuka ezaakolebwa mu bbago lino ezayanjulwa ssabawolereza wa government Kiryoowa Kiwanuka ne minister omubeezi ow’ensonga zomunda mu ggwanga Gen. David Muhoozi eri akakiiko, oluvannyuma lw’abantu n’ebitongole okwemulugunya ku tteeka lino.
Ababaka abamu ku bukiiko buno, babadde bagala ennongosereza zino zikubwemu ttooki emu kwemu, wabula nti obukulembeze bw’obukiiko nebugaana nti ziyisibwe bukolokolo.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa naye aliko ebbaluwa gyeyawandiika ku bbago lino, mweyategereza nti ebbago lyalimu ebirumira ebyali byetaaga okutereeza.
Ebivudde mu lusirika lw’ababaka bano byakwanjulwa eri parliament eyawamu enkya kuTuesday nga 5 May,2026, era parliament lwesuubirwa okusalawo ku bbago lino.X









