Abaana abasoba mu mitwalo 192,310 mu Uganda, tebamanyi bazadde baabwe ekibaleetedde okubundabunda n’abamu okufuuka enfuuzi.
Alipoota eraze nti ku buli mwana omu ku baana 1,000 gwosanga mu Uganda tamanyi bazaddebe.
Abaana bano abawera ebitundu 40% abatalabangako ku bazadde baabwe era tebagenda ku ssomero kusoma, so nga abaana ebitundu 83% bawanduka mu masomero oluvanyuma lw’okuviibwako bakitaabwe naddala abo abawangaalira mu bibuga.
Alipoota era eraze nti abaana abawala emitwalo 68,787 ku baana obukadde 4,619,063, by’ebitundu 2% abali mu Uganda bazadde baana bannabwe ku myaka emito, nga bazaalira ku myaka wakati we 10-17.
Abaana mu bendobendo lya Bunyoro, ne Rwenzori bebasinga okukosebwa mu mbeera eno, eyokufuna embuto nga tebaneetuuka, ssonga wano mu Kampala, Ankole ne Kigezi embeera ebadde yaddeyaddeko.
Bwabadde asoma alipoota eno ku kitebe ky’eggwanga eky’ebibalo ekya Uganda National Bureau of Statistics UBOS mu Kampala, Bryan Wakooli, omukugu mu byebibalo agambye nti mu bitundu bya Buganda district okuli eya Buvuma, Kalangala ne Nakaseke, zezisinga okubaamu abaana abazaala nga tebannetuuka.
mu bukiika kkono bwa Uganda district okuli Kole, Arua ne Amoratar, zezisinga okukosebwa.
Wakooli era annyonyodde nti mu bugwanjuba bwa Uganda district okuli Bundibugyo, ne Hoima zezisinga okukosebwa ate nga mu buvanjuba district ye Namayingo yeesinga okukosebwa ekizibu kyabaana abato okufuna embuto nebazaala baana bannabwe.
Ssenkulu wa UBOS, Dr Chris Ndatira Mukiza, aaabye abakwatibwako mu bitongole bya government ebyenjawulo okulabira ku alipoota eno, bateekereteekere eggwanga nebitongole byebaweereza.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry yeekikula kyabantu, Aggrey David Kibenge, asinzidde wano naategeeza nti bakwongera okukwasizaako abaana naabakyala mu nteekateeka ezenjawulo ezibakulakulanya oluvanyuma lw’alipoota eno.
Bisakiddwa: Ddungu Davis











