Ppaapa Francis alonze Rev Fr. Dr. Constantine Rupiny okubeera Omwepisikoopi w’essaza lye Nebb.
Azze mu bigere bya Ssaabasumba Raphael p’Mony Wokorach kati akulembera essaza ekkulu ery’e Gulu.
Omubaka wa Ppaapa mu Uganda Ssaabasumba Luigi Bianco y’aleese obubaka obwo.
Essaza ly’e Nebbi okuva nga 22 March,2024 libadde teririna Musumba anti eyaliyo, Bishop Wokorach yaweebwa ekya Ssaabasumba w’essaza ekkulu ery’e Ggulu.
Wabula era Ssaabasumba Wokorach y’abadde akyakuuma essaza lye Nebbi, nga Apostolic Administrator.
Abakristu e Nebbi babugaanye essanyu olw’amawulire agasanyusa nti Omutukuvu Ppaapa Francis abalondedde omusumba.
Oluvannyuma lw’omubaka wa Ppaapa okufulumya obubaka buno, Ssaabasumba Raphael Wokorach abutuusizza ku bakristu abakungaanidde mu Eklezia lutikko e Nebbi.
Fr. Rupiny yazaalibwa nga 10 November 1974, nga waalondeddwa abadde mugunjuzi mu bbanguliro ly’Abasaaserdooti erya Alokulum Major Seminary e Gulu.#
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.











