• Latest
  • Trending
  • All

Katikkiro Mayiga atabukidde abazadde abadibaze emikolo gy’okwanjula

March 25, 2024
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

May 15, 2025
UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

May 15, 2025
America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

America edduukiridde Uganda n’ebikozesebwa mu by’obujjanjabi bw’obulwadde bw’Akafuba

May 15, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

NIRA efulumizza ebirina okugobererwa abagenda okuzza obuggya endagamuntu

May 14, 2025
Parliament etandise okwekenneenya ennoongosereza mu tteeka erikwata ku ggye ly’eggwanga

Obukiiko bwa parliament butandise okwekenneenya ennoongosereza ku ttaaka erifuga amagye – ensonga ya kkooti y’amagye etabudde abakaka

May 14, 2025
Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

Buddo SS yetisse empaka z’amasomero eza – USSSA

May 14, 2025
Abakozi ba CBS  bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

Abakozi ba CBS bakyalidde Nnaalinnya Dorothy Nassolo ku lunaku lw’amazaalibwage

May 14, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home BUGANDA

Katikkiro Mayiga atabukidde abazadde abadibaze emikolo gy’okwanjula

by Namubiru Juliet
March 25, 2024
in BUGANDA
0 0
0
0
SHARES
183
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti obunafu mu mikolo gy’okwanjula obusinga, buva ku bazadde abeesuulirayo ogwannaggamba ku nsonga ezeetaaga okusalawo kwabwe.

Kamalabyonna agambye nti oluusi abazadde basussa okuba abakopi nebatuuka n’okusaba abalenzi abaanjulwa mu maka gaabwe nti basooke okubazimbira n’okubalongooseza ennyumba, kyagambye nti mu mbeera bweti omuzadde abeera talina wayinza kusinziira okukugira ebikyamu ebikolebwa mu mikolo gino nti kubanga abeeranga  eyaweebwa ekyoja mumiro.


Bwabadde aggala olunaku olusooka olw’olusirika lw’abakulembeze mu Buganda, agambye nti essira kati lirina kussibwa ku bazadde beetereeze ku nsonga eno, olwo ekitiibwa ky’omukolo gw’okwanjula kikomewo.

Mukuuma Ddamula ategeezezza abakiise nti ebbanga lyonna ensonga y’okwonoona emikolo gy’okwanjula ebadde essibwa ku balungamya baagyo,wabula baakizudde nti abazadde b’abawala bebakanaaluzaala!

“Bukopi nnabaki obwo, obukutuusa okusaba omulenzi akuzimbire, Bwanatandika okumansamansa ssente onooba olina womugaanira?!”

Mu ngeri yeemu Kamalabyonna asabye ebika bitandikewo kaweefube w’okubangawo emirimu omuva ensimbi nga project ezigasa ab’ekika bennyini n’abalala.


Asabye ba jjajja abataka abakulu b’ebika okufuna Nnnamutaayiika ono okukakasa nga waakiri batandika ku nteekateeka eno.

Akalaatidde ministry y’ebyobulambuzi okufuna okuyiiya engeri gy’eyinza okuyingiza ssente ng’ekozesa eby’obulambuzi ebyaffe ebyobutonde era ebiriwo.

Olusirika luno lwakumala ennaku bbiri, luyindira ku Muteesa I Royal University e Kakeeka Mmengo nga lukomekkerezebwa nkya nga 26 March,2024.

Lutambulira ku mulamwa: Okuseeseetula enteekateeka z’Obwakabaka okuva mu Polojekiti okudda mu pulogulaamu nga tunnyikiza Federo ey’ebikolwa.


Abakiise bakubaganyizza ebirowoozo ku ngeri nnyingi ezinaayamba okusitula abantu ba Ssaabasajja omuli engeri ennungamu enaayitwamu okufuna ensimbi, okutumbula eby’obulamu, okutumbula olulimi oluganda n’ensonga endala nnyingi.

Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala
  • Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya
  • People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga
  • Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce
  • Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -