• Latest
  • Trending
  • All
Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enju y’omugenzi Eng.Robert Hubert Kibuuka

Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enju y’omugenzi Eng.Robert Hubert Kibuuka

September 22, 2023
PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government

May 19, 2025
Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF

May 19, 2025
Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi

May 19, 2025
Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza

May 19, 2025
Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

May 18, 2025
Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

Okwefumiitiriza ku bulwadde bwa puleesa – Obwakabaka busazeewo okusomesa abantu okubwewala

May 17, 2025
Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda akomekkerezeddwa – Nnaabagereka abakubirizza okwettanira Technology omuggya

May 16, 2025
People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

People’s Front for Freedom (PFF) ekubiddwa mu kyapa ky’eggwanga

May 16, 2025

Kooti ensukkulumu egobye omusango gw’okujulira ku by’okutunda National Bank of Commerce

May 16, 2025
Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

Parliament ya Uganda eyisizza embalirira y’omwaka 2025/2026 – ya shs trillion  72.375

May 15, 2025
Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

Emmamba Namakaka ewanduse mu mpaka z’omupiira gw’ebika 2025 – Omutima Omusagi guwangudde

May 15, 2025
UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

UEDCL erangiridde ebituukiddwako mu nnaku 41 ezisoose ng’eweereza bannauganda okuva ku UMEME

May 15, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enju y’omugenzi Eng.Robert Hubert Kibuuka

by Namubiru Juliet
September 22, 2023
in Amawulire, BUGANDA
0 0
0
Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enju y’omugenzi Eng.Robert Hubert Kibuuka
0
SHARES
281
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Ssaabasajja Kabaka asaasidde ab’enju ya Eng.Robert Hubert Kibuuka, gwayogeddeko ng’eyakola obutaweera okunyweeza Namulondo n’okuzimba ensi ye.

Mu bubaka bw’Empologoma bwatisse omumyuka owokubiri owa Katikkiro era omuwanika w’Obwakabaka Owek.Robert Waggwa Nsibirwa.

Obwakabaka ne Uganda bufiiriddwa omuntu abadde ow’enkizo mu mirimu egy’ekikugu n’obukulembeze obutaliiko bbala.

Omuteregga agambye nti Eng.Kibuuka yenyigira butereevu mu nteekateeka z’okuzaawo Obwakabaka mu myaka gya 1990, era emirimu gye mu government eya wakati tegyamulobera kubeera muwulize eri Namulondo.

Nnyininsi agambye nti Owek. Kibuuka yali minister w’obuwangwa n’ennono era yakola ky’amaanyi okulambika abantu mu kiseera ekyali eky’okusoomozebwa ng’Obwakabaka bwakaddawo omulimu gweyakola obulungi.

Yakulemberamu era naalungamya  enteekateeka y’okutandikawo CBS, omulimu gw’akoze okutuusa wafiiridde era ng’abadde Director waayo.

Owek.Waggwa era asomye n’obubaka bwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga amwebazizza olw’emirimu gyeyakola mu kutandikawo ebitongole ebyenjawulo mu Buganda, omuli CBS,BUCADEF,BICUL n’ebirala.

Mukusooka wabaddewo ekitambiro kya Missa, eky’okwebaza omutonzi olw’obulamu obwebibala bw’awadde Engineer Robert Hubert Kibuuka eyavudde mu bulamubwensi eno.

Okusaba kubadde ku Eklezia eya Our Lady of  Sorrows Nabitalo Parish, nga kukulembeddwamu Vicar General w’essaza lye Kampala Msgr Charles Kasibante.

Vicar General we ssaza ekkulu erye Kampala Msgr Charles Kasibante akukulumidde abazadde abatakyazimba mpeke ya buntubulamu mu baana ekiviriddeko abangi okweyisa nga ensolo eri bantu banaabwe.

Msgr Kasibante nga yakiikiridde Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala  Paul Ssemogerere yeebazizza bazadde ba Eng. Kibuuka okuli Omugenzi Andrew Mbidde ne Elizabeth Nnakkazi  abaamukuza obulungi n’abeera ettaala mu byonna byabadde akola nti ekitali ku baana b’ensangi zino.

Okusaba kuno kwetabiddwamu Nnaalinnya Lubuga Agness Nabaloga, ne Nalinnya Sarah Kagere.

Minisita omubeezi owa ICT mu government eyawakati Owek Joyce Juliet Nabossa Ssebugwaawo ategeezezza nti eggwanga lifiiriddwa omuntu abadde yebuzibwako ku nsonga z’ekikugu ez’enjawulo.

Ssentebe wa Board eddukanya Radio CBS FM omukungu Mathias Katamba mu bubaka bwatisse omumyukawe David Balaaka, ayogedde ku kirabo ekyobuwabuzi omukama kyabadde yawa omugenzi, era nti abadde abalungamya ku nsonga nnyingi.

Omutaka w’akasolya ow’ekika ky’Endiga Lwomwa mu bubakabwe bwatisse Eria Lwasi omumyuuka wa Katikkiro mu kika kye Ndiga, asaasiddennyo abazzukulu olwokuvibwaako omuliga munnabwe gwayogeddeko ng’abadde omusajja enkwata ngabo mu mirimu gya Buganda gyonna ne mu kika kye eky’endiga kyennyini.

Luis Kiyinji nga ye w’Omutuba gwa Bakka ku lw’Aboluganda lw’Omugenzi, agambye nti Omugenzi abadde ayagala nnyo Kabakawe, era kyavudde amuuwerezza obutaweera.

Kiyingi ategeezezza nti Omugenzi Kibuuka yasigibwa eri Kabaka Kitaabwe Andrew Mbidde, Kabaka Muteesa II bweyali alambula eggombolola ye Busukuma.

Abaana b’omugenzi nga bakulembeddwamu Cyrus Kibuuka ne Stella Kibuuka Nakatudde bebazizza Kitaabwe olw’okubabeerera eky’okulabirako ekirungi, okubalambika ate n’okubafunira emikwano.

Minister w’Ebyentambula n’emirimu mu government eyawakati Gen Edward Katumba Wamala ng’akiikiriddwa akulira ba Engineer mu ministry y’ebyentambula Eng Samson Bagonza, agambye nti Omugenzi yali musaale mu kutandikibwawo kw’ekitongole ky’enguudo ki UNRA n’ebitongole ebirala bingi.

Eyaliko ssenkulu w’Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga Eng  Kimeze Ssebbugga agambye nti waakuleeta ekiteeso eky’Okwefumiitiriza ku buweereza bwa Owek Kibuuka buli mwaaka, nga bweguli ku Bantu abaliko byebaakolera Uganda.

Owek. Eng Robert Hubert Kibuuka yazaalibwa mu 1951, era afiiridde ku gy’obukulu 72.

Agalamiziddwa ku biggya bya ba Jajjaabe e Nabitalo Kiwenda mu ggombolola ye Busukuma mu ssaza  Kyadondo.

Bisakiddwa: Kibuuka Fred

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • PFF etabukidde ab’oludda oluvuganya government
  • Abakungu ba FUFA 3 balondeddwa ku mirimu gy’ekibiina kya CAF
  • Ebbeeyi ya shilling nga bweyimiridde mu katale k’ensimbi
  • Uganda Airlines mu butongole etandise eηηendo zaayo okuva ku kisaawe Entebbe okwolekwra London ekya Bungereza
  • Engabi Ensamba eyongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’Ebika by’Abaganda 2025

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

- Select Visibility -