Olukiiko oluteekateeka empaka z’amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere lulangiridde enkyukakyuka mu mipiira gyonna egigenda okuggalawo omutendera gw’ebibinja, nga kati gyonna gigenda kuzannyibwa ku Sunday nga 03 september,2023.
Mu kusooka emipiira egimu gibadde gyakuzannyibwa ku lw’omukaaga nga 02/09, kyokka kati gyonna giziddwa ku Sunday, era gyonna gyakutandika ku saawa 9 ez’olweggulo so ssi ssaawa 10 nga bwekyabadde kirambikiddwa mu kusooka.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka empaka zino, Hajji Sulaiman Ssejjengo, agambye nti kikoleddwa olw’embiranye eri ku mipiira gyonna ate n’okusobozesa abawagizi okutambula mu budde obulungi.
Emipiira mingi egikyaliko embiranye kuliko, omupiira gwa Buddu ne Buluuli mu kibinja Masengere ogugenda okubeera mu kisaawe kya Masaka Recreation, nga omuwanguzi wano ajja kwesogga butereevu omutendera gwa quarterfinal.
Ttiimu zonna zisibaganye ku bubonero 13.
Mu kibinja kye kimu Masengere embiranye eri wakati Kyadondo egenda kuttunka ne Kyaggwe mu kisaawe e Gayaza, nga Kyadondo erina obubonero 12 ate Kyaggwe erina obubonero 14.
Emipiira emirala egigenda okuzannyibwa ku Sunday, Buvuma egenda kuttunka ne Butambala mu kisaawe e Magyo.
Mawogola egenda kuttunka ne Ssese e Ssembabule.
Busiro egenda kuzannya ne Kabula e Wakisha.
Gomba egenda kuzuzumba ne Mawokota mu kisaawe e Kabulasoke.
Bugerere ne Busujju e Ntenjeru.
Bulemeezi egenda kuzannya ne Ssingo e Kasana Luweero.
Kkooki yakuzannya ne Buweekula ku kisaawe kya St Joseph SS.
Amasaza 4 gaamaze dda okwesogga omutendera gwa quarterfinal okuli Ssingo, Mawokota, Gomba ne Buwekula.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe