President wa Uganda Yoweri Kaguta Museven asonyiye abasibr 200, abavunaanibwa emisango egyenjawulo.
Mu basonyiyiddwa mulimu eyali omuteesiteesi omukulu mu ministry y’abakozi Lwamafa abadde yakaligibwa emyaka 9 okuva mu 2018, nga baamulanga kubulankanya obuwumbi bwa shs obusoba mu 8.
Omwogezi w’amakomera Frank Baine agambye nti enteekateeka zonna ziwedde okukolebwa batandike okuyimbulwa okuva nga 29 August,2023.