Abalamuzi ba kooti ejulirwamu basazeewo kooti eno okujituuza mu bitundu ewazzibwa emisango, okiyambako abantu okwanguyirwa okugoberera emisango  mu bitundu gyejazzibwa.

Mu nkola erangiriddwa amyuka  omuwandiisi wa kkooti  ejjukirwaamu Janeva Natukunda ,abalamuzi mu kooti eno ejjulirwaamu bagenda kuwuliriza emisango egyawaabwa mu kooti eno nga gisibuka mu bitundu ebyo gyegenda okutuula.

Okusinziira ku ssiga eddamuzi , ekigendererwa kyenkola eno kwekwanguyizaako bannansi abawaaba emisango gino, obutabakaluubiriza kutindigga ngendo okuva mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo okugenda e Kampala.

Okuyita mu nkola eno,  ekibinja ky'abalamuzi 3 okuli omulamuzi  Lady Justice Eva Luswata, omulamuzi Lady Justice Margaret Tibulya n'omulamuzi  Lady Justice Cornelia Kakooza Sabiiti, nga 01 December, bakubeera mu Kampala ku kkooti ejjulirwamu okuwuliriza emisango 20.

Emisango gino gyebagenda okuwuliriza kuliko egikwata ku kukujulira okwenjawulo okwateekebwayo abantu abawakanya ezimu ku nsala ezaweebwa kooti enkulu.

Emisango egigenda okuwulirwa ekibinja ekyo gikwata ku by'obusuubuzi n'ebyensimbi omuli bank ezigugulana n'abantu ne kampuni,  kampuni olw'ensimbi ezeewolebwa mu bank ezenjawulo.

Mulimu abantu abakaayanira eby'obugagga , n'enisango gyabafumbo abakaayanira emmaali,  naabasaba kkooti okusattulula obufumbo bwabwe.

Ekibinja ekirala ekyabalamuzi mu kkooti eno ejjulirwamu kyakutuula mu district ye Gulu, nga kino kyakutuula ennaku bbiri nga 01 ne nga 02 Decemver,2026.

Omumyuka wa Ssaabalamuzi Moses Kazibwe Kawumi yagenda okukulembera ekibinja ky'abalamuzi ekyo,  kiriko abalamuzi abalala; omulamuzi John Mike Musisi ne Lady Justice Stella Alibaateese.

Okusinziira ku amyuka omuwandiisi wa kkooti eno ejjulirwamu Janeva Natukunda,  emisango egigenda okuwulirwa e Gulu,  gyekuusa ku nkayaana zebyobugagga, abawakanya okugobwa ku mirimu nebirala.

Emisango egigenda okuwulirwa ku mutendera guno ogwa kkooti ejjulirwaamu gimaze mu kkooti eno emyaka egiwera.#