CBSFM
89.2 FM Emmanduso
88.8 FM Eyobujjajja
cbs@30
Home News About Us
Podcasts
CBS 88.8 FM Eby'obujjajja CBS 89.2 FM Emmanduso
Departments
Board of Directors Management Extended Management CBS Staff
Buganda
Obwakabaka bwa Buganda Ekitiibwa Kya Buganda
CBS Partners Events Archive Contacts Live Chat
🔍 No results found

Try a different search term.

Press Esc to close · ↑↓ to navigate · Enter to open
Now Playing
Home / News / Amawulire / Government ekkiriza amasomero okuddamu okutwala abayizi okul...
Government ekkiriza amasomero okuddamu okutwala abayizi okulambula ebitundu ebyenjawulo - gateereddwako obukwakkulizo
Amawulire

Government ekkiriza amasomero okuddamu okutwala abayizi okulambula ebitundu ebyenjawulo - gateereddwako obukwakkulizo

Namubiru Juliet November 26, 2026 8:19 PM

Government kyaddaaki eggyewo ekkoligo lyeyali yasa ku masomero, nga yali yagayimiriza okuddamu okutwala abayizi okulambuza abaana ebitundu ebyenjawulo, mu mwezi ogw'omusanvu ogw'omwaka guno 2026.

 

Government egamba nti okulambula kw'abayizi kwakuddamu okutojjera mu lusoma lwa Term ejja 2027.

 

Wabula amasomero galina okugoberera amateeka agaateekebwawo ministry y'ebyentambula n'enguudo wamu ne ministry y'ebyenjigiriza n'emizannyo. 

 

Agamu ku mateeka agaayisibwa kwekuli;

-Ba dereeva ba mmotoka ezisaabaza abayizi okuba nga balina obumanyirivu obuvugira ku nguudo abayizi gyebagenda okulambul.

-Emmotoka okusooka okwekebejjebwa

-Ba ddereeva okuba neebiwandiiko ebituufu ebibakkiriza okuvuga emmotoka.

-Obutatikka bayizi kabindo mu mmotoka.

-Abakulira amasomero okusooka okwebuuza n'okufuna olukusa okuva mu ministry y'ebyenjigiriza, oba mu government ez'ebitundu ku bikwata ku bitundu abayizi gyebagenda okulambula.

 

Minister omubeezi ow'eby'obulambuzi, Susan Nakawuki, agambye nti mu nsisinkano gyebabaddemu n'abakulu okuva mu ministry y'ebyobulambuzi n'eyebyenjigiriza, bakkanyizza okulambula kw'abayizi kuddemu nate, okutandika n'olusoma olujja.

 

Nakawuki agambye nti ekiruubirirwa kwekutangira abaana okuddamu okufumu obuzibu, nga bagenze mu kulambula olw'obulagajjavu bw'abateekateeka okulambula kw'abayizi.

 

Agambye nti mu bikaanyizddwako, kwekulaba nti n'okulambula kuteekebwako ekkomo ku saawa abaana zebatambuzibwako, nga kakano teri kusukka saawa emu eyaakawungeezi ng'abayizi bakyali mu ngendo. 

 

Amasomero era galagiddwa nti mu kulambula kuno galina okufumbira abaana emmere ey'okulya, n'okubalabirira obulungi awatali kwekwasa busongasonga.

 

Minister Nakawuki agambye ministry y'ebyenjigiriza egenda kufulumya ekiwandiiko ekyenkomerero ku nsonga eno.

 

 

Government yayimiriza ebyokulambula oluvanyuma lw'abayizi  ab'essomero lya King David Junior School e Makindye okufiira mu kabenje, mu bitundu bye Kapchorwa, abaana abasoba mu 20 ne nnyini ssomero tebaasimattuka.

 

Bisakiddwa: Ddungu Davis 

Share this story
Facebook X WhatsApp Email

Comments (0)

No comments yet. Be the first to share your thoughts!

Leave a Comment

Categories

Amawulire 1396 BUGANDA 562 Sports 490 CBS FM 293 Opinions 277 Business 234 Uncategorized 187 Health 140 Entertainment 108 Nature 107

Related Posts

Abantu 10 bafiiridde mu kabenje akagudde mu mugga Nyagak mu district ye Zombo
Abantu 10 bafiiridde mu kabenje akagudde mu mugga Nyagak mu district ye Zombo
Nov 26, 2026
Governor wa Bank of Uganda Dr.Micheal Atingi-Ego alabudde ku bubbi bwa sente eziyita ku ssimu n'emitimbagano - abatambuza ensimbi bongeremu obukuumi
Governor wa Bank of Uganda Dr.Micheal Atingi-Ego alabudde ku bubbi bwa sente eziyita ku ssimu n'emitimbagano - abatambuza ensimbi bongeremu obukuumi
Nov 26, 2026
Bannauganda abasoba mu 1000 abaagenda okunoonya emirimu e Cambodia bateeberezebwa okuba nga bali mu makomera
Bannauganda abasoba mu 1000 abaagenda okunoonya emirimu e Cambodia bateeberezebwa okuba nga bali mu makomera
Nov 25, 2026
President Museveni alonze Prof. Barnabas Nawangwe okubeera ssentebe omuggya owa National Council for Higher Education
President Museveni alonze Prof. Barnabas Nawangwe okubeera ssentebe omuggya owa National Council for Higher Education
Nov 24, 2026

Latest News

Abantu 10 bafiiridde mu kabenje akagudde mu mugga Nyagak mu district ye Zombo
Abantu 10 bafiiridde mu kabenje akagudde mu mugga Nyagak mu district ye Zombo
Nov 26, 2026
Government ekkiriza amasomero okuddamu okutwala abayizi okulambula ebitundu ebyenjawulo - gateereddwako obukwakkulizo
Government ekkiriza amasomero okuddamu okutwala abayizi okulambula ebitundu ebyenjawulo - gateereddwako obukwakkulizo
Nov 26, 2026
Governor wa Bank of Uganda Dr.Micheal Atingi-Ego alabudde ku bubbi bwa sente eziyita ku ssimu n'emitimbagano - abatambuza ensimbi bongeremu obukuumi
Governor wa Bank of Uganda Dr.Micheal Atingi-Ego alabudde ku bubbi bwa sente eziyita ku ssimu n'emitimbagano - abatambuza ensimbi bongeremu obukuumi
Nov 26, 2026
Bannauganda abasoba mu 1000 abaagenda okunoonya emirimu e Cambodia bateeberezebwa okuba nga bali mu makomera
Bannauganda abasoba mu 1000 abaagenda okunoonya emirimu e Cambodia bateeberezebwa okuba nga bali mu makomera
Nov 25, 2026
Aba Stabex mu Uganda bakiise embuga - bagala kutta mukago ne Buganda mu mirimu egikuuma obutonde bw'ensi n'ebyobulamu
Aba Stabex mu Uganda bakiise embuga - bagala kutta mukago ne Buganda mu mirimu egikuuma obutonde bw'ensi n'ebyobulamu
Nov 25, 2026

Editor Picks

  • Abantu 10 bafiiridde mu kabenje akagudde mu mugga Nyagak mu district ye Zombo

    Nov 26, 2026
  • Government ekkiriza amasomero okuddamu okutwala abayizi okulambula ebitundu ebyenjawulo - gateereddwako obukwakkulizo

    Nov 26, 2026
  • Governor wa Bank of Uganda Dr.Micheal Atingi-Ego alabudde ku bubbi bwa sente eziyita ku ssimu n'emitimbagano - abatambuza ensimbi bongeremu obukuumi

    Nov 26, 2026

Popular Posts

  • Ebikwekweto ku batunda amanda agava mu West Nile byakugenda mu maaso - police eteekesa mu nkola kiragiro kya president

    231 comments
  • Ensonga eziruma abasuubuzi zijulidde - Ssaabaminister Nabbanja ataddewo akakiiko okwekenneenya omusolo ogubaggyibwako

    55 comments
  • Uganda Cubs yesozze omutendera gwa ttiimu 32 ogw'empaka z'ensi yonna eza FIFA U17 - ekubye New Caledonia goolo 6 -0

    54 comments

Categories

  • Amawulire 1328
  • BUGANDA 548
  • Sports 474
  • CBS FM 285
  • Opinions 251
  • Business 217
© 2026 CBSFM. All rights reserved.
Contact Us Privacy Policy Terms of Service
WhatsApp Kirango
Live Chat

Join the Chat