Abantu ba Kabaka ababeera emitala wa myanja bavuganyizza mu Ntanda diaspora, nga nayo etegrlekeddwa CBS FM, MTN Uganda, ne MTN MOMO.


Ng bwekiri ku Ntanda eyetabwamu abantu abali mu ggwanga, n'ekigendererwa eky'okutumbula Obuwangwa n’ennono za Baganda n’okutumbula ebyenfuna bya bantu ba Kabaka nga babawa ebintu ebigenda okubayamba okutumbula enfuna yabwe, bweguli ne ku babeera ebweru w'eggwanga abetabye mu Entanda Diaspora nga baddamu ebibuuzo. 


Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiimye naakyalirako ku Kalidinaali Emmanuel Wamala era neboogera ku nsonga ez'enjawulo.


Ne mu Ntanda Diaspora mubaddemu ekibuuzo ekikwata ku Kalidinaali Wamala, ng'abamegganyi bababuuzizza, Omuziro Kalidinaali gweyeddira, abamu bagambye yeddira Mamba, abalala Kkobe, era bonna ekibuuzo bakigudde, anti yeddira Ngabi Nnyuunga.


Abamegganyi abeetabye mu Ntanda diaspora kubaddeko Nakkazi Eveline owe Dubai afunye obugoba 15, Nalubowa Kulusuumu owe Saudi Arabia naye afunye obugoba 15 ate Lubuuka Batyayambadde Samwiri owe Dubai naafuna obugoba 9, era nga bano bonna baakuweebwa ebirabo okuva mu CBS fm, MTN Uganda ne Mtn Momo.


Entanda ya Buganda eweerezebwa ku CBS 88.8 ne ku kikutu gya CBS egyokumutimbagano, buli lunaku ku ssaawa ssatu n'ekitundu ez'ekiro.


Entanda yakukomekkerezebwa mu Lubiri lwa Kabaka e Mengo mu Nkuuka Jaguza Tukula Ffenna nga 31 December,2026.


Omuzira mu Bazira alaangirirwa mu Nkuuka.


Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus