Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board, (UNEB), kigamba nti waliwo amasomero agawerako agataawandiisizza bayizi okukola ebigezo ebyakamalirizo sso nga emyaka ejiyise gabadde gabawandiisa.

 

UNEB amasomero geyogerako galina center number, ekireseewo okutya nti gandifiiriza abayizi nga tebawadiisiddwa kukola bigezo.

 

Dan Odongo, ssenkulu wa UNEB, mukwogerako ne bannamawulire ku Media Center mu Kampala, agambye nti batandise okunoonyereza ku nsonga eno, era baakufulumya enkalala z'amasomero ago akadde konna.

 

Odongo awabudde abazadde okufaayo okugenda ku masomero g'abaana babwe abasuubirwa okutuula ebigezo omwaka guno, bagoberere ku nsonga eno.


 

 UNEB era egamba nti waliwo amasomero agamu, gaawandiisa abayizi abataliiko bulemu bwonna, nebawandisibwa ng'abaliko obulemu, n’ekigendererwa eky’okubongera obudde.

 

Abayizi 6,090, bebawandiisibwa nga baliko obulemu, kyokka nti bakizudde nga waliwo abayizi abawandiisibwa nga tebaliiko bulemu.

 


 UNEB era efulumizza ennambika yeebinagobererwa mu kuwandiika ebibuuzo by'omwaka guno ebyakamalirizo, ku mitendera gyonna 3, okuli P.7, S.4 ne S.6.

 

Abayizi 1,627,885 bebaawandisibwa mu bibiina byonna, era  bebagenda okukola ebibuuzo ebyakamalirizo omwaka guno 20206.


Omuwendo guno guli waggulu okugeraagerana n'abaakola ebigeo mu 2025, nga beeyongeddeko abayizi emitwalo 211,437 byebitundu 15%, okuva ku bayizi 1,416,448 abaatuula mu 2025.

 

Abayizi bano ebitundu 52%  bawala, ate abayizi ebitundu 48% balenzi.


Omugatte abayizi abakola ebitundu 52% bebaweererwa government mu nkola eya UPE, USE.

 

Uneb etegezezza nti abayizi abagenda okutuula ebigezo bya PLE bali 920,796 nga beeyongeddeko nebitundu 12.4% okuva ku bayizi emitwalo 818,885 abaatula mu mwaka 2025.

 

ABA UCE (S.4)  bali emitwalo 503,214, beyongedde n'ebitundu 16.4% okuva ku bayizi emitwalo 432,163 abaatuula mu 2025.

 

Aba UACE (S.6) abayizi bebasinze okweyongera ennyo nga beyongedde n'ebitundu 23%, okuva ku bayizi emitwalo 166,400 abatuula mu 2025, okutuuka ku bayizi emitwalo 203,875 ab'omwaka guno 2026.

 

Time Table enaagobererwa

UNEB etegeezezza nti abayizi BA S.4 bebagenda okusooka okutuula ebibuuzo byabwe ebyakamalirizo omwezi ogujja ogwa October bakutandika n'okuyisibwamu mu mateeka nga 8, ate mu butongole batandike okuwandiika ebibuuzo nga 11 October  okutuusa nga 3 November.

 

Abayizi aba P.7 abagenda okukola ebya PLE, bebagenda okuddako okuwandiika ebibuuzo okuva nga 30 omwezi ogwe 10, nga babayisizaamu mu mateeka g'ebibuuzo ate mu butongole bawandiike ebigezo byabwe nga 3 ne nga 4 November.

 

Aba S.6 baakutandika briefing nga 7 November ate batandike mu butongole nga 10 November okutuusa nga 5 December abasembayo lwebamaliriza.


 

Bisakiddwa: Ddungu Davis