Parliament ya Uganda yeyamye okuteeka ensimbi mu mbalirira yaayo, ezinasasula  ababaka abasindikibwa okukiika mu parliament y'omukago gw'ensi z'obuvanjuba bwa Africa, eya the East African Legislative Assembly. 

Obweyamu buweereddwa sipiika wa parliament Jacob Mackson Oboth Oboth, mu nsisinkano neba sipiika ba parliament zomukago guno ogwa East Africa.

Etudde mu kibuga Nairobi ng'ekubiriziddwa sipiika wa parliament ya Kenya Moses Wetangula, nga ye ssentebe wolukiiko olutaba ba speaker ba palament zomukago guno

Ensisinkano eno, egendereddemu okukuba ttooki mwebyo ebyasalibwawo abakulembeze b'amawanga gannamukago guno mu nsisinkano yaabwe eyaliyo mu March,2026.

Ebimu kwebyo ebyasalibwawo mu nsisinkano  eyali ey'omulundi ogwa 25, kye kya buli ggwanga okwesasulira ababaka baayo beesindiika mu parliament y'omukago eya East African Legislative Assembly 

Kino kyasalibwawo olw'agamu ku mawanga gannamukago,  okulemererwa okuwaayo omutemwa gwago eri omukago, nga zino zezaavangako omusaala n'ensako esasulwa ababaka ba parlrament eno wamu n'abakozi. 

Alipoota ziraga nti Uganda, Kenya, Tanzania ne Rwanda ezaali zettika omugugu gwokusasuliranga abalala.

 South Sudan, Burundi,Democratic Republic of Congo ne  Somalia ebyokusasula byali tebitambula bulungi, kyokka nga ababaka baazo mu parliament yomukago balina okusasulwa emisaala.

Kino abakulembeze b'amawanga ga nnamukago kwebaasinziira nebayisa ekiteeso nti buli ggwanga  lyetikke omugugu ,yesasulire ababaka baayo okutandika mu December w'omwaka 2027.

Sipiika wa Uganda Jacob Oboth Oboth agambye nti parliament ya Uganda kino egenda kukisa mu nkola, egenda kutunula mu mbalirira yaayo  ensimbi zino zifunibwe ezinaasasula ababaka omwenda Uganda beesindiika mu parliament eyo.#