Eggye lya Uganda erya UPDf lirangiridde nti litandise ku nteekateeka zookuggya abajaasi baayo bonna ababadde bakuuma emirembe mu Somalia,   bagiwe omwagaanya okukola ku ensonga ze byokwerinda byayo.

Okumala emyaka egisoba mu 20 government ya Uganda ebadde etwala abajjaasi  mu Somalia okubayambako okukuuma emirembe, olw'okulwanagana n'entalo ezibadde zitakoma mu ggwanga lino.

Amagye ga UPDF gabadde gakikola n'ebitongole ebyenjawulo omuli The African Union Support and Stabilization Mission in Somalia( AUSSOM) saako amagye okuva mukago gwa East Africa n'amawanga amalala.

Enteekateeka y'okuggya abajjaasi ba UPDF mu Somalia yakukolebwa mu mitendera era kwatandikiddewo, nga waliwo ekibinja ky'abajjaasi 109 abaatuuse edda ku butaka.

Akolanga omwogezi wa UPDF Col Chris Magezi ayise ku mukutu gwe ogwa X nategeeza nti basuubira abajjaasi abawerezebwa mu Somalia mu nkolagana ya (AUSSOM)o omwaka ogujja 2027 wegunatukira  bagya kuba baweddeyo bonna mu Somalia.

Ategeezezza nti kino kikoleddwa okuwa omwaganya amagye ga Somalia aga Somalia Armed Forces okutwala mu maaso ensonga ezikwata ku byokwerinda mu ggwanga lyabwe.#