United Arab Emirates UAE eggyewo ekkoligo lyeyali yateeka ku bannauganda obutalinnyayo kigere, olwekirwadde kya Ebola ekyabalukawo ku muliraano e DR Congo nekisaasaanirako ne Uganda.
Amawanga agawera gaalangirira obukwakulizo ku mawanga ga Africa asatu agaawulirwamu ebola,okuli Uganda, South Sudan ne DR Congo.
United Arab Emirates, India , United States of America nendala zezimu kweezo ezaalangirira obukwakulizo obwo, wabula gyebuvuddeko ekitongole kyensi yonna ekyebyobulamu ki World Health organization kyalangirira Uganda nti tekyaalimu kirwadde kya Ebola.
Ministry y'ebyobulamu eya United Arab Emirates ng'eri wamu n'ekitongole kyensi eyo ekikola ku bibamba ki National Emergency Crisis And Management Authority ,saako ekitongole kyensi eyo ekivunaanyizibwa ku bantu abayingira n'okufuluma UAE ki Federal Authority for Identity ,Citizenship ,Customs and Port security birangiridde nti bikkakanyizaamu ku bukwakkulizo bwebyali bateeka ku bannayuganda okugenda mu nsi eyo.
Obukwakulizo buno ensi Eno eya United Arab Emirates yali yabulangirira mu mwezi gwa June 2026.
Wabula obukwakulizo oba ekkoligo eryali lyateekebwa ku mawanga okuli Democratic Republic of Congo ne South Sudan bwo busigaddewo nga government ya United Arab Emirates bweyongera okwetegereza embeera.
Oluvanyuma lwa UAE okuggyawo ekkoligo lino, bannayuganda abalina visa nebitambuliiso ebirala baddembe okwolekera United Arab Emirates.
Minister ow'ensonza zamawanga amalala mu government ya Uganda ,Ambassador Adoniya Ayebare ayaniriza amawulire gokugyawo ekkoligo lino.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment