President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Museveni ayimirizza.mbagirawo ekitongole kya KCCA okukozesa ekifo kyebaafuna mu bitundu bye Buyala okuyiwayo kasasiro,naakiragira kinoonye ekifo ekirala.
Ekitongole kya KCCA oluvanyuma lwa Kiteezi okujjula kasasira naaziika abantu abasoba mu 30, KCCA yasalawo okuyimiriza okwongerayo kasasiiro, neefuna Buyala ku Mityana road, mu district eye Mpigi gyebadde emuyiwa.
Wabula President abalagidde okuyimiriza enteekateeka eno bunnambiro, olw'ekifo ekyenjawulo ekigenda okuzimbibwa e Namwabula ku luguddo lwelumu, awagenda okuterekebwa amafuta ga Uganda, agawera liita obukadde 320.
President Museveni agamba nti kibeera kyabulabe okukkiriza kasasiiro okuliraana amafuta, kisobola okuvaako obulabe obw'amaanyi obuyinza n'okutwaliramu obulamu bw'abantu.
President abyogeredde Namwabula mu mukuka gwe Nsujjumpolwe mu gombolola ye Kiringente mu district ye Mpigi bwabadde atongoza omulimu gw'okuzimba atterekero ly'amafuta erigenda okuba nga lyerisiinga obunene mu Uganda, nga lyakumala emyaka ebiiri nga lizimbibwa.
Mungeri yemu President atabukidde ba commissioners n'abakungu mu government olw'okubeera mu tulo nga bannauganda babbibwa.
Awadde eky'okulabirako ekya government ye okutuuka okugula amafuta kubakayungirizi okuva mu ggwanga lya Kenya ku bbeeyi eri waggulu.
Minister w'amasanyalaze n'obugagga obw'ensibo Dr Monica Musenero asinzidde wano nabuulira President nti wakulondoola enteekateeka eno okutusa ng'ewedde bulungi, ate nga n'abatuuze bafunyeemu.
Omuteesiteesi omukulu mu ministry y'amasanyalaze n'ebyobugagga eby'ensibo Irene Batebe agambye nti bagenda kugaziya etterekero ly'e Jinja okuva ku litres za mafuta liita obukadde 30, okutuuka ku bukadde 40.
Byonna nga biwedde Uganda egenda kuba esobola okutereka amafuta liita obukadde 360.
Ssentebe wa boodi ya UNOC nga bebali mu nteekateeka z'okuzimba ekifo kino Omukungu Mathias Katamba ategezeza nti betegese bulungi okukola omulimu omulungi era bakwatagana bulungi ne bitongole ebikwatibwako.
Okusinzira ku Uganda National Oil Company (UNOC) ekifo kino kyakuwemeta obukadde bwa dollar za America 310, era nga kiriko acres 300.#
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment