Omutaka omukulu ow’akasolya k’ekika ky’Akasimba Kabazzi Nnampuuma David Marvin Miti avudde  mu bulamu bw’ensi mu ddwaliro e Mengo nga 02 June,2026.

Katikkiro w’ekika ky’Akasimba,  Lwanga Edward Brown Buyondo agambye nti omutaka yagwiriddwa ekirwadde ky’Entnnunsi naddusibwa mu ddwaliro e Mengo, eyo nga gyassirizza omukka ogw’enkomerelo.

Ayogedde ku Mutaka Kabazzi Nnampuuma  ng’abadde omusajja Omwetowaze ayagala abaana be wamu na Bazukulu bonna .

Enteekateeka z’olukiiko lw’Abataka abakulu Ab’obusolya ez’okutaambuza ennono y’ekika okufuna Kabazzi Omubbulukuse bwezinaaba ziwedde, olwo Kabazzi Omubuze aterekebwe  ku Butaka e Kyango mu Mawokota.

Omutaka Kabazi abadde atuula ku lukiiko olukulembera  ekitongole kya Kabaka ekivunaanyizibwa ku butale ekya Rexber,   ng’abadde muwi w’amagezi ku by’obuwangwa n’ennono.

 

Ekika ky’Akasimba

-Obutaka bw’akasimba buli mu Kyango mu ssaza Mawokota.

-Akabbiro k’Akasimba Ngo

-Omubala gw’Akasimba guvuga nti; Kiiso bwekikulaba obulungi, naawe okiraba.