Government ng’eyita mu ministry y’ebyobulimi obulunzi n’obuvubi erangiridde nti okuvuba mukene mu nnyanja za Uganda zonna kwa kuddamu nga 10 omwezi guno ogwa Museenene (November), 2026 oluvanyuma lw’emyezi 9 nga zassibwako envumbo.
Government yayimiriza okuvuba mukene ku ntandikwa y’omwaka guno 2026, ng’erumiriza abavubi okukozesa ebitimba ebitakkirizibwa mu mateeka ebikokota ennyanja n’okutwaliramu obwennnyanja obuto.
Okuva olwo Bannayuganda abaali bayimiriddewo ku mukenene babadde badooba, ng'emyalo baagiddukako.
Minister omubeezi ow’ebyobuvubi Robert Migadde Ndugwa alangiridde nti ngennaku zomwezi 10 November, omwezi guno ennyanja zaakuggulwawo wabula abavubi baakugezesebwa okumala emyezi 4 okulaba oba nga bagoberera amateeka.
Omulangira Wasajja omu ku bakulembeze b’abavubi okuva mu bizinga by’e Kalangala, agambye nti embeera ebaddewo ey’obutakola bannaabwe ebanyize nnyo.
Abalunzi b’enkoko nabo nga bakulembeddwamu Omulunzi omukukuutivu Kevin Ssewakiryanga bagamba nti eky’okuwera okuvuba mukene nabo abalunzi kyabanyiga nnyo, era kyavaako ebbeeyi y’ebirungo ebirala bye bakozesa mu kutabula emmere y’enkoko okupaaluuka.
Mu ngeri yeemu Kevin Ssewakiryanga abuuliridde abavubi ba Mukene beefuge, bagondere ekyo government kyebawadde nga bwe balwanirira ekisingako.
Newankubadde guli gutyo, abavubi abamu basigadde bakukkuluma nti enkola eya Cotacota teyamba bali mu business ya mukene, okuggyako abanoonya mukene ow’okulya.
Deborah Ninkuze omuvubi wa Mukene okuva ku mwalo gwe Katosi mu Kyaggwe agambye nti enkola ya Kyoota gyebaabalagidde tekola ku buli mwalo.
Mu mbeera yeemu abavubi bavuddemu omwasi nebasaba omukulembeze w’eggwanga akome ku magye ne ba RDC ababasojja ku nnyanja nga bagenderera okubalemesa omulimu gwabwe.
Bagamba nti basiinga kusuusuuta abagwiira abajja mu Uganda nebavuba ebyenyanja bya Uganda nga ne mukene mw’omutwalidde newabula abakuba ku mukono, ate nga bannansi bakugirwa.
Mu bimu ku biragiro government bye yawa abavubi ba Mukene mwe muli okukozesa obutimba obwa cotacota, amataala balina kukozesa sitima so si aga solar, amaato balina kuvubisa agali mu ffuuti 24 ku 29, balina okubeera ne license ate n’ebitimba byabwe obutabisembereza nnyo lubalama lwa nnyanja, ebyennyanja gye byalulira.
Bisakiddwa: Ddungu Davis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment