Minister omubeezi owa tekinologiya,
Owek Joyce Juliet Nabbosa ssebuggwaawo, asabye ebitongole bya government okusaawoenkola ezibiyamba okukozesa ettaka lya government awatali kusika muguwa kyanguye enzirukanya y'emirimu gyabyo.
Mminister abyogeredde kololo , bwabadde alambula Emirongooti gy'ebyempuliziganya ,kwasanze nga kuliko ebitongole bibiri ebikaayanira obwa nnannyini bw'ettaka eryo, ekya Uganda Broadcasting Corporation ne ne Uganda Telecom.
Minister akinogaanyizza nti ebitongole okuli UBC ne UTL ensonga ezibigugulanya ku ttaka lye Kololo, zigenda kuggwera mu cabinet.
Minister asabye ne bannamagye
abasenga ku ttaka lyÓbunaala okulowooza ku kufuna ekifo ekirala, nti kuba ekifo webali
kyabulabe nnyo eri obulamu bwabwe.
Mu ngeri eyenjawulo government erangiridde nti yakutongoza enteekateeka eyenjawulo ng’omwaka guno 2026 tegunnaggwaako, abantu mwebagenda okusasulira emitwalo 250,000 gyokka okulaba TV zaakuno zonna n'emikutu gyebweru ebiri, nga tewagenda kubaawo kuddamu kusasulira TV .
Bisakiddwa: Kato Denis
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment