Omulamuzi Kooti y'e Makindye Aidah Nanjala esindise ku alimanda e Luzira Vincent Arnold Nsamba ow'emyaka 47,agambibwa okukuba eyali omuyimbi era omukommonsi w'omulere mu Afrigo Band Moses Matovu eyali amanyiddwa nga Papa Moi eyali ow'emyaka 77\
Oludda oluwaabi lutegeezezza nti Nsamba yatta Moses Matovu nga 24 September, 2026,mu Market B Zone, mu muluka gwe Kibuli Parish, Makindye Division mu Kampala.
Nsamba takiriziddwa kubaako kyeyewozaako kubanga omusango ogumugguddwako gwa butemu era gwa nnaggomola guwulirwa kooti nkulu.
Omulamuzi amusindise ku alimanda okutuusa nga 03 November,2026, lwanadda mu kooti okuwulira okunoonyereza ku musango ogumuvunaanibwa wekunaaba kutuuse.
Nsamba asimbiddwa mu kooti n'omukyala Rose Tumusiime,agambibwa okuba nga yeyaviirako Matovu Moses okuttibwa, wabula ye Tumusiime atwaliddwa abasirikale b'ebyokwerinda nga talina musango gumusomeddwa.
Okunoonyereza kwa police kulaga nti Matovu yali akyaliddeko ku mukyala ono ku ssaawa nga kkumi n'emu n'ekitundu ezokumakya, awo Nsamba webasangira nabaggulako olutalo okukkakana ng'akubye Matovu weyamusangira namuggyawo namuddusa mu ddwaliro e Kibuli gyeyakutukira nga bakamutusaawo.
Bisakiddwa: Betty Zziwa
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment