Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye ba ssenkulu bÉbitongole byÓbwakabaka ne ba ssentebe ba boodi zaabyo okunnyikiza Obumu mu buweereza, nÓkukuuma Omutindo mu byebakola ku lwÓbulungi bwa Buganda ne Ssaabasajja Kabaka.

Katikkiro  asinzidde ku kitebe kyÉbyobulambuzi mu Bwakabaka ku Butikkiro, bwabadde asisinkanye ba ssenkulu ne ba ssentebe ba boodi zÉbitongole byÓbwakabaka.


Ensisinkano eno ebeerawo buli mwaka okukuba tooci mu nkola y'emirimu mu bitongole by'Obwakabaka, n'okutema empenda ez'okusitula omutindo.


Mukuuma ddamula agambye nti obuwanguzi bwonna Buganda bweyetaaga bugenda kuva ku bunyiikivu mu nkola yÉmirimu, Omutindo nenkolagana ennungi, kweekusaba ba ssenkulu okunyweeza byebakola.


Katikkiro asabye ba ssenkulu okunyweeza omutindo gwÁbaweereza mu bitongole bwebaba baakukola magoba, mungeri eyenjawulo neyeebaza olwa byonna ebituukiddwaako nga biwa Obwakabaka essuubi.


Ssentebe w'Eddiiro lya ba ssenkulu b'ebitongole by'Obwakabaka Omuk Loland Ssebuwuufu, agambye nti emiramwa egyenjawulo egizze gibaweebwa Katikkiro omuli okunyweeza Obumu ,Okusitula Omutindo mu buweereza n'Okwongera ku magoba g'ebitongole gyongeddwaamu amaanyi, era waliwo ebituukiddwaako bingi.


Bisakiddwa: Kato Denis