Kyadaaki ekisaawe ky'ennyonyi ekya Kabalega International Airport e Hoima kinaatera okuggwa, kiggulibwe mu butongole mu January w'omwaka ogujja 2027.
Bino bikakasiddwa minister w'ebyentambula Fred Byamukama bwabadde ku kisaawe kino okwanirizza abasaabaze abajjidde mu nnyonyi esookedde ddala okugwa ku kisaawe ky'ennyonyi ekya Kabalega International Airport mu kibuga Hoima, bajjidde mu biwayi bisatu.
Ennyonyi ekika kya Mitsubishi CRJ 9005X-EQU yesoose okugwa ku kisaawe kino ku ssawa ssatu n'eddakiika ana rzokumakya (9:40am) ku Sundaynga 27 September,2026.
Ejjiddemu abakungu abakulembeddemu entekateeka y'omupiira gw'empaka z'okusunsulamu abanakiika mu AFCON 2027, abavudde mu FIFA ne CAF.
Uganda egenda kuzannya Libya ogugenda okubaayo ku Tuesday nga 29 September.m mu Hoima Stadium.
Ennyonyi ereese tiimu y'omupiira ey'eggwanga lya Libya nayo etuuse ku saawa musanvu n'eddakiika nnya ez'emisana (1:04pm), ngate yo ereese ttiimu ya Uganda cranes etuuse Ku saawa kkumi neddakiika kumi nattaano (4:15pm) ngabano bajidde mu nnyonyi ya Uganda CRJ 900 Bombardier.
Minister Fred Byamukama akakasizza nti omutendera ogusooka ku kisaawe kino ki Kabalega International Airport bweguwedde eranga guwemmense ensimbi Trillion 1.2.
Omutendera ogwokubiri gwetaagisa billion 232 nga kwekuli n'okukakasa ekisaawe kino okukozesebwa okuva mu kitongole ky'ensi yonna ekifuga entambula z'ennyonyi, okuteekako obutaala ku kisaawe n'ebilara.
Byamukama agamye nti ekisaawe kyakutongozebwa omukulembezze w'egwanga Yoweri Kaguta Museveni mu January w,omwaka ogujja 2027,ngera kyakwongera ettafaali ddene mubyenkulakulana y'eggwanga.
Kabaleega International Airport kyatandika okuzimbibwa mu mwaka gwa 2018.
Ekisaawe kino kitunuuliddwa nnyo okutambuza abazannyi b'omupiira Uganda bweneeba ekyazizza egimu ku mipiira gy'ekikopo kya AFCON omwaka ogujja 2027, kyegenda okutegeka wamu ne Kenya ne Tanzania.
Ekisaawe kye kimu kyakuyamba nnyo mu kusaabaza abantu abali ku mulimu gw'okusima amafuta agali mu bitundu bye Bunyoro.
Bisakiddwa: Nabagereka Edithie
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment