Ennambika eno government mwegenda okusinziira etondewo ebbanguliro ly'abasomesa limu eryetengeredde, erinaayongerako abasomesa okufuna obukugu obwenjawulo, bafuuke ab'omutindo.
Agambye nti buli lunaku olukya abanoonyereza bongera okuzuula technology omupya, omuli n'amagezi g'ebyuma bi kali magezi, saako enkyukakyuka mu nkola y'emirimu, nga n'olwekyo, abasomesa basaanidde okubeera nga bazza buggya obukugu bwabwe n'ebyebasomesa abayizi bibeere nga bikyuka n'enkyuka y'ensi.
Dr. Dennis Mugimba omwogezi wa Ministery yebyenjigiriza n'ebyemizanyo mu ggwanga, asinzidde ku Media Centre mu Kampala nategeeza nti ebbanguliiro ly'abasomesa erimu lyoka erigenda okutandikibwawo ligenda kutumiibwa Uganda National Institute For Teacher's Education.
Dr. Dennis Mugimba ategezeeza nti kino bagenda kukikola nekigendererwa eky`Okwongera okutumbula omutindo gwabasomesa abafulumizibwa ogubadde gutandiise okunabuuka.
Dr Dennis Mugimba era ategezeeza nti government era eri mu nteekateeka ezibaangawo akakiiko akagenda okulungamya n'okulobdoola abasomesa bonna abali mu ggwanga, akagenda okutumiibwa National Teacher Council.
Mu nteekateeka eno ministry y'ebyenjigiriza mu Uganda etehese olukungaana lw'abakugu mu byenjigiriza okuva mu mawanga ag'enjawulo ne munda mu Uganda, okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y'okusitula omutindo gw'abasomesa n'ebisomesebwa.
Olukungaana lwakubaawo nga 01 ne 02 ku Hotel Africana mu Kampala.
Bisakiddwa: Musisi John
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment