Omusaserodooti Rev Fr James Kabuye Katonda gweyali awadde ekitone eky'okuyiiya, okuwandiika ennyimba n'okuyimba ennyimba z'eddiini aziikiddwa ebikumi n'ebikumi by'abantu, ku lutikko ya St.Noah Mawaggali mu Kiyinda Mityana.
Omusumba we Ssaza lya Kiyinda Mityana, Dr Anthony Zziwa nga yakulembedde mu ekitambiro kya misa ekisiibula omugenzi Fr Kabuye, ngayambibwako abepisikoopi abalala nabasaserodooti, asabye abantu naddala bannabyabufuzi, okulabira ku mugenzi babeere n'empisa n'amazima.
Omusumba Zziwa asabye abantu abalala okukozesa ebitone byabwe okuyamba ensi okumanya Katonda, naddala banabyabufuzi.
Omusumba Zziwa era nga ye ssentebe w’olukiiko lw'abepisikoopi mu Ugamba, asinzidde wano, nabuuza buli muntu mu bitone byabwe ebyenjawulo engeri gyebabikozesezaamu eri abalala, okutendereza Katonda ate nensi okuba obulungi.
Omusumba Zziwa ayambiddwako omusumba we Masaka Severus Jjumba n'owa Kasana Luweero Laurence Mukasa.
Fr.James Kabuye yabadde ssentebe w’olukiiko olw'ebyenyimba mu kitundu kya ekerezia ekya Bugamda.
Mu kitambiro kino Omusumba Zziwa asomye obubaka bwa Cardinal Emmanuel Wamala, maye atenderezza nnyo Omugenzi Fr.James Kabuye olwobuwereza bwakoze obujudde empisa, amazima, obwenkanya ate n'okuyigiriza abantu okutendereza Katonda ng'ayita mu Nnyimba.
Rev.Fr.James Kabuye abadde awezezza emyaka 63 mu busaserodooti.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment