Namutikkwa w'enkuba ebaddemu kibuyaga omungi agoyaagoyezza ebyalo by'eggombolola ye Kifampa ne Kabulassoke mu district ye Gomba ebintu bingi bisanyiziddwawo.
Ebyalo ebisinze okuyisibwa obubi kibuyaga oyo kuliko Matongo Centre, Mutasindirwa, Kijjongo, Kifampa n'ebirala.
Ebizimbe by'amasomero agamu bibikkuseeko obusolya, amayumba g'abatuuze agamu gasigadde ku ttaka, n'ebirime bingi naddala ebitooke ne muwogo bigudde.
Kibuyaga wajjidde, abayizi b'amasomero babadde bakyaali mubibiina nga basoma era amasomero asatu Okuli Standard primary school, His grace primary school ne Kifampa church of Uganda primary, ebizimbe byago bitikkuseeko obusolya kyokka tewali muyizi yenna akoseddwa.
Abamu ku batuuze mu kitundu ekyo nga bakulembeddwaamu Ssekaluvu Paul owe Matongo Gomba wamu n'omwami wa Kabaka ow'omuluka gwa Mituba 5 Matongo nga ye Gyaviira Lubega n'abalala bategeezezza Cbs nti ekitundu ekyo kibadde kimaze emyezi 4 nga tekifuna wadde ettondo ly'enkuba.
Wabula ate bwezze ezze n'amaanyi agayuguumizzaekitundu, era eyo y'enkuba ya season asoose nebawanjagira abakulembeze baabwe wamu ne office ya Ssabaminisita ebakwatizeeko n'obuyambi naddala obwensigo z'okusimba.
Bisakiddwa: Patrixk Sserugo
Comments (0)
No comments yet. Be the first to share your thoughts!
Leave a Comment