Radio ya Buganda CBS esse omukago  ne kampuni y'ebyempuliziganya eya MTN Uganda, gubalirirwamu ensimbi obuwumbi 5 n'obukadde 600 (shs 5.6b) okumala rmyaka 3,  n'ekigendererwa ekyokutumbula eby'obuwangwa ,obumu n'enkulaakulana mu Bantu ba Kabaka.

Mu mukago guno CBS ne MTN bagenda kutumbula obuwangwa n'ennono z'Abaganda nga bayita mu program Entanda ya Buganda.

Entanda y'omwaka guno 2026,  bagyongeddemu ebinnonogo nga ku luno abasoyissoyi baakutandulula ku bigere bagende mu Masaza ga Kabaka agenjawulo, basoyezeeyo abamegganyi  ebibuuzo n'ekigendererwa eky'okwongera okusembeza Entanda eri abantu ba Kabaka.

Enkuuka nayo eyongeddwamu ebirungo nga ku luno abantu ba Kabaka abanaatunda n'okwolesa ebyamaguzi byabwe mu Nkuuka.m baakuvuganya era abanaakira ku bannaabwe baweebwa ebirabo.

Mu Mukago guno Cbs ne MTN era bagenda kulwanyisa ekizibu ky'ebbula ly'emirimu mu ggwanga nga bayita mu kuwa abantu ba Kabaka  omukisa okukozesa omutimbagano.m okukolerako ebintu ebibawa ensimbi.

CBS ne MTN era Bagenda kukozesa omukago guno  okwongera amaanyi mu kumalawo obubenje ku nguudo  nga bayita mu nteekateeka emanyiddwa nga Labuka Tofiira ku kkubo.



Bwabadde atongoza Omukago guno ku Kitebe ky'Obwakabaka eky'ebyobulambuzi e Mengo, Nnaalinnya Agnes Nabaloga Lubuga asabye buli munnamukago okuli cbs ne MTN okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe omukago guveemu ebibala.


Ssenkulu wa MTN Sylvia Mulinge yeebazizza CBS  N'Obwakabaka okubeesiga nebayingira omukago gw'agambye nti gugenda kukola ky'amaanyi okuggulirawo abantu ba Kabaka emikisa mu byenkulaakulana.

Asuubizza nti MTN yaakwongera okuwagira enteekateeka z'Obwakabaka zonna.


Ssenkulu wa CBS Omukungu Micheal Kawooya Mwebe agambye nti omukago guno gugenda kuyamba CBS  okwongera okutuukiriza ekiruubirirwa ekyagitandisaawo Ssaabasajja Kabaka eky'okukulaakulanya abantu be.


Omukolo guno gwetabiddwako Omukubiriza w'olukiiko lw'abataka abakulu ab'obusolya Namwama Augustine Kizito Mutumba, Omutaka Kidimbo, Ssenkulu w'olukiiko olufuzi olwa CBS Omukungu Balaaka David, n'abakungu abalala okuva mu Bwakabaka ne MTN.

Bisakiddwa: Ssekajjijja Augustus