Obwakabaka bwa Buganda bulabuddde abantu abakozesa emikutu  emitimbagano okuvvoola Okubuvvoola n’okutyoboola Ssabasajja  Kabaka okukikomya bunnambiro.

Obwakabaka butegeezza  nti waliwo abagufudde omugano nga  bayita ku kumitimbagano okwonoona erinnya n’ekitiibwa kya Kabaka, Katikkiro n’abakulembeze  abalala mu bwakabaka  nga basiga obukyayi n’okusosola mu mawanga, nga balina ekigendererwa eky’okunafuya n’okukyaya Buganda.

Minister w’amawulire, okukunga abantu era Omwogezi w’o bwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke asinzidde ku mbuga enkulu mu Bulange e Mengo mu kwogerako eri bannamawulire,  nalabula bonna ebereega mu bwakabaka nti balye kamanye ng’akoza nowebbwa , nti kubanga Obwakabaka sibwakusirika  naddala  ku batyoboola Nnamulondo.

Mu mbeera yeemu   Isreal Kazibwe Kitooke ategeezza nti oluvanyuma lwobwakaba okwekubira enduulu eri ekitongole ekinonyereeza ku buzzi bwemisango mu ggwanga  ki CID, abeby’okwerinda baanoonyereezza era nebakwata omuvubuka  Musana Ibrahim eyeyita Pressure abadde yefudde mmo mu  kutyoboola obwakabaka.

Owek.  Isreal  Kazibwe asabye abantu mu Buganda obutaterebuka olw’abantu abasaasanya obulimba ku Buganda ,wabula basigale bumu ku kukuuma n’okutaassa Nnamulondo saako okukulakulanya Buganda.

mu ngeri yeemu omwogezi wa police Fred Enanga ategezezza nti bakakungaanya obutambi obusoba mu 50 obulumika omuvubuka Musana Ibrahim, avunaanibwa okukozesa obubi omutimbagano návvoola Ssaabasajja Kabaka.

Bisakiddwa: Ssebuliba Julius